TOP

Lya obutiko okuzimba obwerinzi bw'omubiri

By Musasi wa Bukedde

Added 24th February 2020

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 703x422

Obutiko obusabikiddwa obulungi obugenda okutundibwa

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga abantu tebettanira kulya butiko naye abakugu bagamba nti, bano tebamanyi kye basubwa.

Josette Sanyu, omukugu mu byokulya agamba nti, obutiko bulimu ebiriisa bingi nga bino biyamba okuzimba omubiri mu ngeri ez’enjawulo.

  1. Bwongera okukola obutoffaali bw’omubiri:
  2. Sanyu agamba nti, omuntu buli lw’alya obutiko buyamba okuzimba obutoffaali obuyamba omubiri okulwanyisa endwadde. Agamba nti, kino kiyamba naddala abantu abalina akawuka ka siriimu n’abaana.
  3. Obutiko buyamba okuleetera omuntu yenna abadde tayagala kulya ekyagala era natandika okulya.
  4. Vitamiini: Obutiko bulimu vitamiini D, A, C eziyamba okukuuma omubiri nga mulamu.

Osobola okubukaza n’obufumba n’obulya. Abamu babukolamu obuwunga bw’obuugi nga buno buyamba naddala okuzimba omubisi gw’abaana abato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...

Mwe 220x290

Abaakava e Dubai babaggye Matugga...

WABADDEWO akasattiro e Matugga abasawo b’ebyobulamu okuva mu Munisipaali y’e Nansana bwe bazinzeeko abantu ababadde...