TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Engeri abasawo gye bajjanjaba abawala abataamera mabeere ne bagafuna

Engeri abasawo gye bajjanjaba abawala abataamera mabeere ne bagafuna

By Musasi wa Bukedde

Added 27th February 2020

Wabaawo obubonero obweyoleka ku mubiri buli lw’okula nga ku buno kwe kuli abawala okusuna amabeere n’okugenda mu nsonga nga bino bw’atabifuna wabaawo obuzibu, era waliwo abawala abalina ekizibu kino wabula embeera eno esobola okutereezebwa.

Omuntu bw’aba akula alina emitendera egy’enjawulo gy’ayitamu era emitendera gino gikyuka okusinziira ku myaka omuntu gy’aba atuuseeko.
Wabaawo obubonero obweyoleka ku mubiri buli lw’okula nga ku buno kwe kuli abawala okusuna amabeere n’okugenda mu nsonga nga bino bw’atabifuna wabaawo obuzibu, era waliwo abawala abalina ekizibu kino wabula embeera eno esobola okutereezebwa.
Ate ku mulenzi wabaawo okumera ebyenkwawa, okukyuka mu bitundu bye ebyekyama, eddoboozi okudoodooma era bw’akulira ddala amera n’ebirevu.
Obubonero obulaga enkula y’abaana abazadde basaanye okubugoberera n’okubwegendereza basobola okubayamba ssinga wabaawo ekitatambudde nga bwe kisuubirwa. Abasawo bannyonnyola ku nsonga eno.
 duyiro owebika ebyenjawulo ayamba okukuza obusimu obuyamba mu kukuza amabeere nokugenda mu nsonga nu baana Dduyiro ow’ebika eby’enjawulo ayamba okukuza obusimu obuyamba mu kukuza amabeere n’okugenda mu nsonga nu baana.
 

 MWANA AFUNA DDI OBUBONERO OBULAGA NG’AKUZE 

Dr. Emmanuel Katende, ow’eddwaaliro lya St. Theresa Medical Centre e Kireka agamba nti, omwana okukula obulungi abeera n’obusimu obumuyamba okufuna enkyukakyuka mu mubiri era nga buno butandikira ku bwongo ne butuuka ku bitundu by’omubiri ebiraga nti, mukyala oba musajja. 
Obusimu buno buyamba omwana okutandika okufuna obwagazi bw’omukyala oba obw’omusajja, okukula mu bwongo, okuguma amagumba, okukyuka omusaayi, ebinywa, olususu, enviiri, amabeere, obusajja n’obukyala, okuwanvuwa n’okugejja era bw’abeera omuwala n’okugenda mu nsonga. 
Enkyukakyuka zino zirabibwa kungulu ku mubiri gw’omuntu era omwana bw’aba akyuka omuzadde amulaba. 
Omuwala atandika okukyuka wakati w’emyaka 10 ne 11 wabula okukula kuno kukoma ku myaka egiri wakati wa 15 ne 17. 
Wabula ssinga omwana atuuka mu kiseera kino nga tannakula, omuzadde alina okwebuuza ku basawo n’ayambibwa. 
Abalenzi batandika okufuna obubonero wakati w’emyaka 11 ne 12 era enkyukakyuka zino zikoma batuuse ku myaka 16 ne 17. 
Omwana bw’aweza emyaka 10 kirungi n’omukebeza obusimu era bw’abeera tabulina basobola okumujjanjaba.
ATAASUNA MABEERE N’ATAGENDA MU NSONGA BASOBOLA OKUJJANJABWA 
 r mmanuel atende Dr. Emmanuel Katende

 

Atalina mabeere asobola okujjanjabwa n’atereera ssinga bamuteekamu obusimu obuvunaanyizibwa ku mabeere n’okuzaala.
Bwe bamuteekamu obusimu buno atandika okukyuka n’okugenda mu nsonga. Kirungi omuntu n’ajjanjabwa nga tannaweza myaka 30 kubanga omubiri gwe gubeera gukyali muto era bw’afuna obusimu buno kimwanguyira okufuna olubuto n’azaala.
Obutagenda mu nsonga n’obutamera mabeera tekitegeeza nti, omuwala talina nnabaana. Omukazi ssinga abeera awezezza emyaka 40 n’okusingawo bw’ateekebwamu obusimu buno omubiri gwe gukyuka n’amera amabeere era n’agenda ne mu nsonga, wabula bw’aba ayagala okuzaala balina okumukubamu obusimu obumuzza obuto era bukolerawo.
Ebimu ku biyamba okukuza obusimu obuyamba mu kukuza amabeere n’okugenda mu nsonga mu baana kwe kukola dduyiro.
Omubiri bwe gubeera gukola okugeza ng’omwana yeenyigira mu byemizannyo ng’okubaka, okubuuka, okudduka, okuzina, kimuyamba kinene okusuna amangu amabeere n’okugenda mu nsonga OBUJJANJABI 1 Abasawo basooka kukebera ne bamanya ekika ky’obusimu ekibeera kibula mu mibiri gw’oyo alina ekizibu.
Asobola okuba ng’alinako obusimu obumu wabula nga tebumumala kukula bulungi nga bwetaagisa kwongeramu.
Asobola okuba ng’obumu abulina kyokka nga waliwo bwatalina era ezijanjaba ekyuka.  Waliwo n’abalina obusimu obungi obumu nga bwazibiikiriza obulala ne butakula bulungi ne kivaako obuzibu buno.
 Enzijanjaba esobola okutandikira ku mpeke ssinga ekizibu kibeera kitonotono kyokka bwe kibeera kyetaagisa obusingawo bakuba mpiso.
Obujjanjabi tebutwala bbanga ddene wabula kisinziira ku kika ky’obusimu ky’aba yeetaaga.
KW’OLABIRA OMWANA ATALINA BUSIMU BUNO 
Obutagenda mu nsonga z’abakyala ng’emyaka gituuse.  Obutamera mabeere.
Omulenzi obutafuna bwagazi. 
 Okubeera n’ebinywa ebinafu mu basajja. 
Omwana abeera n’ebinyamanyama mu mubiri gwe naddala emabega w’amatu. 
Bw’anyiiga avaamu olusu olw’enjawulo.
NNEEKUBAGIZA OLW’OBUTABA NA MABEERE 
Florence Nakalema, wa myaka 22, talina mabeere era tagenda mu nsonga. Annyonnyola by’ayitamu: Mbeera Kyebando, wabula obulamu bwange bwansobera kubanga sirina mabeere ate sigendangako mu nsonga za kikyala. 
Ekisinga okunneewuunyisa, bato bange bonna balina amabeere era bagenda mu nsonga z’abakyala. Ekituufu nneeraba ng’omuwala atatuukiridde era oluusi bwe nyambala engoye mpulira nga nswala. 
Bawala bannange be nsoma nabo ku yunivasite bansekerera era n’abalenzi abamu banjerega olw’okuba omubiri gwange gulinga ogw’abaana abato. Kino kindeetera okwekubagiza n’oluusi okwekyawa. 
Oluusi nteekamu akaleega akazimba abantu ne balowooza nti nnina amabeere, wabula embeera eno ngikooye. 
Nagendako mu ddwaaliro ne bansaba emitwalo 30 okuzuula awali obuzibu nga tekuli za bujjanjabi wabula zambula. 
Nsaba omuzirakisa yenna asobola okumpa obuyambi ankubireko ku nnamba y’essimu 0700378090 oba 0784429279.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi