TOP

Engeri gy’otangira ssennyiga w’e China

By Ruth Nazziwa

Added 27th February 2020

Dr. Mwebesa akuutira abantu okunaaba mu ngalo ne sabbuuni okusobola okutangira obulwadde buno n’akkaatiriza nti, mu kiseera kino, teri muntu yenna y’azuuliddwa na bulwadde buno mu Uganda wabula ng’abantu balina okwongera okubeera obulindaala.

Asiika2 703x422

Akawuka ka vayiraasi akaleeta ssennyiga w’e China nga kazimbulukusiddwa nga bwe kafaanana

AKULIRA eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Henry Mwebesa yagambye nti, mu Uganda mu kiseera kino twakaawula abantu 500 abateeberezebwa okuba ne ssennyiga w’e China era nga bakuumibwa mu kifo eky’enjawulo okusobola okubekenneenya.

Ku bano, abantu 217 bamazeeko ennaku 14 ze balina okumala ku kalantiini era nga bakakasibwa okuba nga balamu bulungi tebalina bulabe bwonna eri eggwanga.

Dr. Mwebesa akuutira abantu okunaaba mu ngalo ne sabbuuni okusobola okutangira obulwadde buno n’akkaatiriza nti, mu kiseera kino, teri muntu yenna y’azuuliddwa na bulwadde buno mu Uganda wabula ng’abantu balina okwongera okubeera obulindaala.

KALANTIINI WA NNAKU 14 Omuntu ateeberezebwa okuba ne ssennyiga w’e China oba ateeberezebwa okutambuza obulwadde buno naddala abava e China, bateekebwa mu kifo eky’enjawulo gye bakuumirwa nga beekenneenyezebwa okumala ekiseera kya nnaku 14.

Bwe kizuulibwa ng’omuntu talina buzibu ng’asiibulwa, wabula ekiseera kino kiyinza okweyongerayo ssinga kizuulibwa ng’ali mu bulabe bwa maanyi obw’okufuna n’okusaasaanya obulwadde buno.

Abantu abayita ku kisaawe e Ntebe ne bayingira eggwanga nga tebalina bubonero bwa ssennyiga ono, bakuumirwa mu kifo kimu okumala ennaku 14 nga bwe beekenneenyezebwa.

Era mu kiseera kino, Abachina b’e Sseeta be tukuuma bali kumpi kumalako kiseera kyabwe eky’ennaku 14 era mu kiseera kino nabo bali bulungi.

 r enry webesa Dr. Henry Mwebesa

 

KY’OSAANYE OKUMANYA SSENNYIGA W’E CHINA Gye buvuddeko, ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna ekya World Health Organisation (WHO) kyalangirira nti, ssennyiga w’e China afuuse kizibu kya nsi yonna oluvannyuma lw’okukizuula ng’asaasaanide mu mawanga ag’enjawulo okuli; Japan, USA, Thailand ne South Korea.

Mu kiseera kino abantu abakunukkiriza mu 1,800 be baakafa ssennyiga okwetooloola ensi yonna era nga kiteeberezebwa nti, abantu abasoba mu 71,000 baafuna obulwadde buno nga kwe kwali 450 abaali ku kyombo ky’abadigize ekyakwatibwa ku lubalama e Japan.

Bannassaayansi bagamba nti, omuntu alina obulwadde buno asobola okubusaasaanya mu bwangu nga buyita mu kukolola oba okunyiza era kiteeberezebwa nti, omuwendo gw’abantu abalina obulwadde buno omutuufu gukunukkiriza mu 350,000 mu kibuga Wuhan e China kyokka.

Ssennyiga w’e China asaasaanyizibwa obuwuka obusirikitu era asobola okukwata abantu n’ebisolo ng’asensera obutoffaali bw’omubiri ekitaataaganya enkola yaagwo. Obulwadde buno tebulabwangako era bannassaayansi abakugu mu kunoonyereza ku buwuka obusirikitu aba International Committee on Taxonomy of Viruses baabuwa erinnya lya Severe Acute Respiratory Syndrome Coronavirus 2 (SARS-CoV-2).

Bano bagamba nti, okuva ekikangabwa kino lwe kyagwaawo, kyazuulibwa ng’akawuka kano kalina obusobozi okutta omuntu ku buli bantu 50 ababulina okuva mu mwezi gwa December 2019.

Dr. Helena Maier, okuva mu Pirbright Institute e China agamba nti, ssennyiga ono asobola okukwata abantu, ente, embizzi, embwa, kkapa n’ebisolo byonna eby’omu nsiko wabula ng’ekisolo ekituufu ekyaleeta obulwadde buno tekinnamanyibwa.

OBUBONERO Obulwadde buno bwe bukukwata, kiyinza okutwala wakati w’ennaku bbiri ne 14 oba okusingawo okulaga obubonero wabula osobola okubusiiga abalala mu kiseera kino.

Obumu ku bubonero obweyoleka ng’ofunye ssennyiga w’e China mulimu: okukulukuta eminyira, ekifuba, ebbugumu ly’omubiri okulinnya, okusaakaala obulago n’ebirala. Businga kukwata bakadde, abaana n’abantu abalina obulwadde obw’olukonvuba kuba abaserikale abakuuma emibiri gyabwe babeera banafu.

Kino kivaako amawuggwe munda okuzimba ne gajjula amazzi ekikaluubiriza omuntu okussa era bw’aba tajjanjabiddwa mangu asobola okuziyira n’afa.

SSENNYIGA W’E CHINA AWONA? Mu kiseera kino tewannabeerawo ddagala lyazuuliddwa eriwonya oba okugema ssennyiga w’e China.

Era nga bannassaayansi okuva mu The National Insititute of Health e Bungereza ne Baylor University e Waco, Texas mu Amerika bakola okunoonyereza okuzuula eddagala erimugema ng’okunoonyereza kuno kuyinza okumala omwaka mulamba n’okusingawo.

BW’OTANGIRA SSENNYIGA W'E CHINA Emmanuel Ainebyona, owa minisitule y’ebyobulamu agamba nti, “Mu kiseera kino mu Uganda tewannabeerawo muntu yenna y’azuuliddwa na ssennyiga w’e China, wabula gavumenti ekola butaweera okulaba ng’eteekawo enkola eneeyamba okukebera n’okubutangira nga tebunnatulumba.

 mmanuel inebyona Emmanuel Ainebyona

 

Era omuntu yenna gwe tufuna ng’alina obubonero bwa ssennyiga ono naddala ng’akolola, alina ssennyiga n’ebirala tumwekenneenya mu ngeri ey’enjawulo n’okumwawula nga bwe tweyongera okumwekenneenya.

Kati tukebera abantu bonna abayingira eggwanga naddala abalinamu ku ssennyiga, omusujja n’okukolola ku kisaawe ky’ennyonyi ne ku nsalo zonna eziyingira eggwanga okusobola okubutangira nga tebunnayingira mu ggwanga.

Twabakanye dda n’omulimu gw’okusomesa abasawo ku bikwata ku bulwadde buno, engeri gye bweyolekamu ng'obufunye ne bye balina okukola nga bakebera.

Gye buvuddeko, minisitule y’ebyobulamu yasuubizza okusindikira abayizi abasobeddwa nga basomera China ssente 200,000,000/- zibayambeko okufuna emmere n’ebyetaago ebirala nga bwe tulindirira embeera okutereera.

Era ne bateekawo obuyambi bwa ssente endala 20,000,000,000 ezinaayambako mu kuziyiza obulwadde buno nga tebunnayingira ggwanga.

Ssente zino za kukozesa okulabirira abantu nga waliwo afunye ssennyiga w’e China, okugula ebyuma, okuteekawo ekifo eky’enjawulo we bayinza okujjanjabira ababulina n’ezinaakola ku basawo abanaakola omulimu guno.

Weewale okukwata mu maaso, mu nnyindo ne mu kamwa, ate bw’ofuna obumu ku bubonero obwogeddwaako waggulu oba okulaba ababulina, genderawo mu ddwaaliro. 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi