TOP

ssennyiga w’e china,Abakugu ba Uganda bavuddeyo okumulwanyisa

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2020

OMUWENDO gw’abantu abalwala ssennyiga w’e China owa Coronavirus (Covid-19) mu nsi yonna gweyongera buli lukya olw’ebbula ly’eddagala erisobola okulwanyisa obulwadde buno.

Obulam1 703x422

Abakola ogw’okunoonyereza ku Coronavirus ku UVRI, ku ddyo ye, John Kayiwa.

Amawanga agasoba mu 100 galina abalwadde ba ssennyiga ono naye nga gye yatandikira mu ggwanga lya China n’okutuusa kati tebannafuna ddagala lijjanjaba bulwadde buno wadde nga balina eddagala erimukkakkanya era n’awonera ddala.

Mu Uganda, ekitongole kya Uganda Virus Research Institute (UVRI) e Ntebe kye kivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku buwuka obuleeta endwadde ez’enjawulo n’engeri gye tuyinza okubulwanyisa.

ssennyiga wa bika bingi Dr. Pontiano Kaleebu, akulira ekitongole kya UVRI yategeezezza nti, ssennyiga alimu ebika era buli muntu amukwata kyokka amuyisa bubwe okusinziira ku maanyi g’omubiri gwe.

Waliwo ssennyiga akwata ebisolo eby’enjawulo n’abiyisa bubi era bw’abeera akutte ku ffaamu y’omulunzi ayinza okufiirwa ebisolo bingi.

Naye n’ebisolo waliwo ebibeera birina obusobozi mu mubiri okulwanyisa ssennyiga ono n’awona.

Emyaka egyayita waliwo ssennyiga eyava mu hhamiya mu nsi za buwalabu gwe bayita MARS eyatta omuwendo gw’ebisolo n’abantu abawera naye yakkakkanyizibwa BIRAZE KU P14 Abakugu ba Uganda bavuddeyo okumulwanyisa abakugu n’aggwaawo.

N’omulala baali bamuyita SARS nga naye yatta abantu bangi naye nga yenna kyazuulibwa nti, yali ava mu bisolo.

EKY ’ENJAW ULO SSENNYIGA W’E CHINA KY ’ALINA

Waliwo ssennyiga abaddewo okumala ebbanga nga tulina eddagala mu malwaliro erimukkakkanya ng’akutte omuntu.

Amulina abeera asobola okumusiiga omulala naddala nga waliwo bye bakozesa awamu oba ng’abeera kumpi n’abantu.

Bw’obeera omulina osigaza obulamu bwo kubanga tosobola kufa ne bw’abeera mungi olw’eddagala lye bakuwa mu ddwaaliro erisobola okukkakkanya akawuka n’otereera.

Ssennyiga w’e China ekimufuula ow’enjawulo kiri nti, bw’aba akukutte anafuya omubiri gwo oluvannyuma n’otandika okuziyira.

Ekiziyiro kino ky’ekisinze okutta abantu be tuwulidde bafa kubanga akendeeza ku mukka gw’ossa okutuusa lw’aziba emimiro, y’ensonga lwaki batugamba okubikka omumwa n’ennyindo.

Ssennyiga ono asaasaanira ku misinde gya waggulu, alina akawuka bw’abeera tannakimanya buli w’akwata n’omulala n’akwatawo ebiseera ebisinga avaawo nako naddala nga yasoose kunyiza okukwatawo

 r ontiano aleebu akulira ekitongole kya uvri ekikola okunoonyereza ku ssennyiga Dr. Pontiano Kaleebu, akulira ekitongole kya uvri ekikola okunoonyereza ku ssennyiga.

 


Amalwaliro ery’e Ntebe ne Naggulu gategekeddwa okujjanjaba ssennyiga w’e China
 

Ssennyiga ono atta mangu era omulwadde tasobola kusukka wiiki bbiri (ennaku 14) ng’a amulina. Bw’omufuna n’otofuna buyambi ku kiziyiro ky’oba ofunye yeeyongera okukuziba emimiro n’akutta.

Ssennyiga ono akwata abantu bonna, omweru n’omuddugavu, omuto n’omukulu naye asinga kuyisa bubi bantu abakulu abali mu myaka 50 n’okudda waggulu kubanga emibiri gyabwe gibeera gitandise okunafuwa nga tegikyasobola kulwanyisa kawuka ak’amaanyi.

Mu bantu be tuwulira abafa mu China n’amawanga amalala, bwe weekenneenya ekibalo ky’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization (WHO), abavubuka n’abaana abato batono abafudde olw’ensonga nti, emibiri gyabwe gikyalina amaanyi okulwanyisa akawuka kano era babeera n’emikisa mingi okuwona.

OBUJJANJABI

John Kayiwa, akola mu labalatole mu kitongole kya UVRI yategeezezza nti, ssennyiga oba obuwuka bwonna tewali ddagala libujjanjaba kuwona, wabula obumu waliwo eddagala eribuweweeza mu malwaliro ageetoolodde mu ggwanga nga bwe kakukwata olimira ne kakkakkana.

Kino tekiri mu bantu bokka wabula n’ebisolo. Eddagala eririwo erikkakkanya ssennyiga abaddewo okumala ebbanga terisobola kukola ku ssennyiga wa Coronavirus COVID 19 kubanga wa maanyi nnyo era atambulira ku misinde mingi. Omuntu amufunye bw’abeera azuuliddwa alina okuteekebwa mu kifo yekka era tulina amalwaliro abiri okuli Entebbe Grade ‘B’ ne Naggulu ageeteegese okukola ku balwadde.

Ekisingira ddala obukulu ku mulwadde wa ssennyiga ono kumuwa bujjanjabi obumuyamba okussa obulungi era asobola okuwona amangu bw’abeera talina ndwadde ndala ng’akawuka ka siriimu n’eddala.

UGANDA YEETEGESE

Engeri Ssennyiga gy’aluddewo waliwo ekyuma ekiruddewo mu ggwanga nga kikebera ebika bya ssennyiga ebibeera bizuuliddwa mu bantu n’ebisolo.

Naye Coronavirus - COVID 19 bwe yazuuliddwa, eggwanga lya China lyakwatagana n’ekitongole kya WHO ne bawa Uganda ekyuma ekikebera ssennyiga ono.

Waliwo ekibinja ky’abasawo abatendeke ku kisaawe e Ntebe abeekenneenya abo abateeberezebwa okubeera ne ssennyiga ono era baggyako ebipimo ne bitwalibwa okukeberebwa, oluvannyuma ne bitwalibwa ku minisitule y’ebyobulamu n’esalawo bateebwe Amalwaliro ery’e Ntebe ne Naggulu gategekeddwa okujjanjaba ssennyiga w’e China okudda eka naye babakubiriza okubeera bokka.

Balina abantu abaddamu okubakeberako nga wayiseewo akabanga okulaba nga tebalina kiraga kyonna nti, bayinza okufuna ssennyiga ono oluvannyuma.

Ssinga wabaawo okuzuula omuntu yenna nti, alina ssennyiga ono nga mugwira bajja kumuwa eddembe lye ng’omulwadde okwesalirawo oba ajjanjabibwa wano oba okuzzibwayo mu nsi ye.

Bw’abeera Munnayuganda, ajja kufunirwa ekifo gye bamukuumira nga bw’afuna obujjanjabi okutuusa lw’awona era amangu ddala minisita ajja kutegeeza eggwanga nti, ssennyiga atuuse abantu bongere okubeera obulindaala.

BW’OTANGIRA SSENNYIGA W’E CHINA

Buli muntu alina okwekuuma okulaba ng’atangira ssennyiga ono okumukwata.

1 Weewale okukwata mu ngalo z’abantu kubanga akawuka katambuliramu nnyo.

2 Weewale okukwata ku bintu ebingi kubanga tomanya abaasoose okubikwatako oba balamu oba balwadde.

3 Weewale okukwatirira omumwa n’ennyindo yo kubanga bye bisinga okukwatibwa amangu ssennyiga ono.

4 Bw’obeera olwadde oba ng’olina gw’omanyi nti, amufunye mukubirize okugenda amangu mu ddwaaliro okufuna obuyambi okutaasa obulamu bwe n’obw’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi