TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo yeeganyi abali ku ttaka ly’eggombolola e Kakeeka

Mmengo yeeganyi abali ku ttaka ly’eggombolola e Kakeeka

By Musasi Wa

Added 9th January 2012

EKITONGOLE kya Kabaka ekya Buganda Land Board (BLB) kivuddeyo ne kyegaana abantu abali ku ttaka ly’embuga y’Eggombolola ya Kabaka ey’omukulu w’ekibuga Kakeeka.

2012 1largeimg209 jan 2012 105259437 703x422

Bya Lilian Nalubega

EKITONGOLE kya Kabaka ekya Buganda Land Board (BLB) kivuddeyo ne kyegaana abantu abali ku ttaka ly’embuga y’Eggombolola ya Kabaka ey’omukulu w’ekibuga Kakeeka.

Omukungu avunaanyizibwa ku by’okugaba liizi mu BLB, Lamech Ssonko yagambye nti BLB terina  kakwate konna n’abantu abali ku ttaka lino nti abo bonna abakyekwasa nga bagamba nga bwe kyabawa olukusa okukolerako emirimu gyabwe n’okuzimbako balimba.

Ssonko yabadde ayogerera mu lukiiko olwayitiddwa okugonjoola obutakkaanya obuli ku ttaka lino omuli n’abantu abesenza mu nnyumba y’embuga eno ababeeramu abalemesezza n’abakungu b’eggombolola okwegazaanyizaamu.

Yategeezezza nti bo nga BLB bamanyi minisita w’ebyemirimu n’abavubuka yekka okuba nga yaweebwa olukusa okulimira emiti mu kifo ekyamuweebwa nti kyokka abalala omuli bamakanika ba loole, abazimbye obuyumba bw’okukoleramu emirimu egitali gimu n’abo abali mu nnyumba y’eggombolola tebabamanyi.

“Omutendera oguddako tugenda kujja nga tuyambibwako ebitongole eby’enjawulo ne ofiisi ez’enjawulo ne Kaggo tujje tulongoose ekifo kino kuba tumanyi kino kifo kya nnono ekitagabwako kyapa era kye kimu ku bifo ebyatalizibwa olukiiko olufuzi olwa Buganda ng’era ssinga wabaawo enkulaakulana yonna ne lukkiriza enkulaakulana ereetebwe mu kifo kino lwe lulina okuwa olukusa BLB.

Wano tumanyiiwo ebintu bibiri byokka omuli ennyumba y’eggombolola ne Nursery Bed ey’abavubuka. Abo bonna abagamba nti baaweebwa olukusa okubeerawo balina okuleeta amabaluwa agaabaweebwa kwe tuba tusinziira tulongoose,” Ssonko bwe yagambye.

Olukiiko luno lwetabiddwamu abaami ba Kabaka aba ggombolola y’omukulu w’ekibuga omwabadde ab’emiruka, abatongole, abamu ku batuuze abali ku ttaka okuli enkaayana n’abalala  abaavudde ku ssaza e Kasangati.

Olukiiko lwaddiridde aba BLB okuleeta abakungu okuva mu kitongole kya ‘The Cross Culture Foundation of Uganda’ abaategeezezza nga bwe balina obwetaavu okuddaabiriza embuga eno efuulibwe ekifo ekiterekebwamu ebyafaayo bya Buganda ‘Buganda Museum’ ate n’okukolako ekisenge ekiteesezebwamu eky’omulembe olukiiko lwa ggombolola mwe lunaatuulanga.

Wabula ab’ekibiina baategeezezza nti ebyo baakubikola ng’abantu abalimu okuli abasulamu, ggalagi ya biroole eyassibwa okumpi n’ekifo kino ko n’abantu abagenda bazimba obufo obutundirwamu emmere n’ebikozesebwa bamaze okusengulwa.

Omumyuka wa Kaggo, Hajji Badru Bunkeddeko yategeezezza nti ssi beetegefu kufiirwa nkulaakulana olw’abantu abamala geesenza mu bukyamu era wano w’asinzidde n’awa abatuuze n’abo abakolerako egyabwe wiiki emu yokka nga baleese ebiwandiiko ebiboogerako abatabirina basenguke mu bwangu.

Mmengo yeeganyi abali ku ttaka ly’eggombolola e Kakeeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...