TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusango gw’aba Nakinsinge bagusindise wa Kabaka

Omusango gw’aba Nakinsinge bagusindise wa Kabaka

By Musasi Wa

Added 15th March 2012

KKOOTI ya Kisekwa esindise omusango gw’ekika kyEnnyonyi Nakinsige ewa Kabaka y’aba asalawo eggoye oluvannyuma lwa Katikkiro okulagira guddemu okuwozesebwa kyokka abawaabi ab’oludda lwa Hajji Musa Kalega Kafuuma ne bakiwakanya nga bagamba nti eno kkooti yawa dda ensala eyayo.

2012 3largeimg215 mar 2012 103220520 703x422

Bya Lilian Nalubega  

KKOOTI ya Kisekwa esindise omusango gw’ekika kyEnnyonyi Nakinsige ewa Kabaka y’aba asalawo eggoye oluvannyuma lwa Katikkiro okulagira guddemu okuwozesebwa kyokka abawaabi ab’oludda lwa Hajji Musa Kalega Kafuuma ne bakiwakanya nga bagamba nti eno kkooti yawa dda ensala eyayo.

Nga December 9,  2009 Kkooti ya Kisekwa eyakulemberwa  J.C. Ssempebwa mu kuwozesa omusango gw’obukulu bw’ekika kya Nakinsige  yasingisa  abawawaabirwa  okuli katikkiro w’ekika omugenzi Hajji Khasim Kyeyune n’ow’Essiga Ssemmanda omusango gw’okwagala okutuuza omuntu omukyamu ku bukulu bw’ekika.

Wabula abawawaabirwa tebabikkiriza ne bajulira ewa Kabaka kyokka nga Katikkiro wa Ssemmanda ne sipiika w’ekika, Ishaq Ssennyonga Majwala bagamba nti tekwatambuzibwa bulungi ne bajulira ewa Katikkiro eyalagidde omusango guddemu okuwulirwa.

Kkooti nga February 8, 2012 yatudde okuwulira omusango guno kyokka abawaabi ne balaga obutali bumativu nga bagamba nti kkooti y’emu yamala dda okusala omusango guno nga okuguddamu kujja kuba kumala biseera.

Kkooti oluvannyuma lw’ekwekennenya okwemulugunya kuno yawadde ensala yaayo  n’esindika okujulira kw’abawawaabirwa  ewa Kabaka y’aba asalawo eggoye.

Wabula Hajji Kalega yawawaabira Khasimu Kyeyune n’owessiga Ssemmanda nga agamba nti beekobaana okutuuza Ronald Kiwanuka ku ntebe y’obukulu bw’ekika kyokka nga ne kitaawe omugezi Samwiri  Bugingo yali yalyalya nsowole abawawaabirwa kye bawakanya nga bagamba nti bugingo okufuuka Kyeyune yalondebwa lukiiko lwa Kika oluvannyuma lwa Mugandawe Zeekiya Stefano Mayega okufa mu 1945 nga tazadde mwaana n’omu era nga talaamye ku ani anaamuddira mu bigere.

Bakkaatiriza nti era bugingo yayanjulwa ewa Kabaka ng’omukulu w’ekika kino omuggya ng’eyali Omusolooza Yosia Zirimmenya ye yakola omukolo guno mu 1948.

Omusango gw’aba Nakinsinge bagusindise wa Kabaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...