TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abataka batabuse ne batiisa okuzira okwetaba ku mikolo gya Buganda

Abataka batabuse ne batiisa okuzira okwetaba ku mikolo gya Buganda

By Musasi Wa

Added 5th November 2012

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’abataka ab’obusolya, Ying Waligo Nakirembeka aleetedde abataka baakulembera okwetemamu ne Mmengo ng’abamu bagamba nti asusse okuwanda omuliro ku mikolo gattako okuwakanya enteekateeka za Mmengo.

2012 11largeimg205 nov 2012 075134400 703x422

Bya Angel Lubowa ne Lillian Nalubega

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’abataka ab’obusolya, Ying Waligo Nakirembeka aleetedde abataka baakulembera okwetemamu ne Mmengo ng’abamu bagamba nti asusse okuwanda omuliro ku mikolo gattako okuwakanya enteekateeka za Mmengo.

Embeera eno ewalirizza ab’e Mmengo okutandika okumumma akazindaalo ku mikolo aleme kukubagana mpawa ne Katikkiro wa Buganda Ying J.B Walusimbi era kati emikolo egiwerako abadde taweebwa mukisa kwogera.

Kyokka kino kinyiizizza abamu ku bataka b’obusolya abamuwagira nga abagamba nti bamulanga bwereere kubanga byonna byayogera by’ebyo ddala ebiruma Buganda lwakuba abamu ku bakungu b’e Mmengo baagala okuzibiikiriza.

Abawagira Nakirembeka batiisizza nabo okutandika okuzira emikolo gya Mmengo kubanga teyinza kulemesa mukubiriza waabwe kwogera ate nga y’entabiro y’ebika by’Abaganda ne Mmengo era abamu bategeezezza nti ng’entandikwa y’okuzira emikolo basazeewo butayimirira bwe babeera banjuddwa ku mikolo.

Balaze emikolo kwagaaniddwa okwogera

Egimu ku mikolo gye baamulemesezza okwogererako kuliko ogwasembayo nga Kabaka aggulawo ekizimbe kya Muganzirwazza. Abawagizi ba Nakirembeka bagamba nti yali ateekeddwa okwogera ku mukolo guno kyokka abateesiteesi baakola obukodyo n’atayogera.

Omukolo omulala gwali gwa bya bulambuzi mu Buganda ekintu kye kimu kyakolebwa omutaka Nakirembeka n’ammibwa omukisa okwogera.

Ku mikolo gy’abavubuka e Masaka, Omutaka Nakirembeka yali yeetegese bulungi okubaako by’ayogera kyokka teyaweebwa mukisa guno.Abataka abataayagadde kwatuukiriza mannya gaabwe olw’okwewala okusika omuguwa ne be kikwatako baategeezezza nti okugaana omukubiriza waabwe okwogera kuba ku bayisaamu maaso ne balabula nti singa kino tekiikome baakuzira okwetaba ku mikolo Mmengo gy’etegeka kiryoke kimanyibwe nti banyiivu.

Abalala bakisemba

Wabula Abataka abamu abatakkiriziganya na Nakirembeka baawagidde eky’okumumma akazindaalo nti kubanga oluusi alina lw’ayogera nga munnabyabufuzi asaba akalulu ku kadaala. Baayongeddeko nti emirundi mingi Omutaka Nakirembeka avaayo n’alumba gavumenti ekisukkiridde oluusi n’atwaliramu n’abakulembeze b’e Mmengo gy’amalira nga tewali ategedde ky’alwanirira.

Ku mikolo gy’okukuza amatikkira ga Kabaka  ag’omulundi ogw’e 19, Ying Nakirembeka bwe yakwata akazindaalo yayogera ebikankana n’asaba Mmengo okuzira ssente obuwumbi bubiri Katikkiro ze yali yaakafuna  okuva mu gavumenti eya wakati ezaamukwasibwa pulezidenti Museveni kennyini.

Nakirembeka yategeeza nti bwe kibeera kisoboka tewali nsonga lwaki ssente zino ezitamanyiddwako kigendererwa Mmengo tezizzaayo nti kubanga zaali zisobola okugotaanya eby’okuzzaawo Amasiro kubanga gazimbibwa mu buwangwa nti si buli anaaleeta ssente nti yanakkirizibwa.

Kyokka Katikkiro bwe yakwata akazindaalo, yatangaaza ku ssente zino era n’ayanja ne pulogulaamu z’okuzaawo Amasiro nti tewali yali asobola kuziremesa kubanga ye, aziri mu mitambo mukugu mu by’okuzimba .

Katikkiro era yawa amagezi nti buli alina kyateesa ku by’Amasiro kyandibadde kirungi okutuukirira akakiiko k’ekikugu Mmengo ke yasaawo ku Masiro okusinga okugawera ku buli mukolo.

Katikkiro yategeeza Obuganda ku mukolo ogwo nti ssente ezaamuweebwa ne Kabaka yali azitegeezeddwaako mu butongole.

Minisita w’ebyamawulire ayogedde

Kyokka minisita wa Kabaka ow’ebyamawulire Charles Peter Mayiga yategeezezza nti kisoboka okuba ng’okutya kw’abataka ab’obusolya we kuli, nti naye kusaanye kuveewo kubanga buli lwe kyetaagisa Nakirembeka ayogera.

Yannyonnyodde nti Mmengo erina emikolo mingi ng’egimu gya bya nnono n’obuwangwa era ku gino tebayinza kulemesa Nakirembeka kwogera nti wabula wabeerawo egimu nga tegigwa mu layini ye.

Wabula yagasseeko nti tekiri ku Nakirembeka yekka, wabula ku bakungu ba Kabaka bonna era buli omu ebiseera ebisinga ayogera kw’ebyo ebiri mu layini ye.

Waliwo ba minisita ba Kabaka abalala basatu abaasabye obutabatuukiriza mannya olw’okukuuma obumu nabo abategeezezza nti waliwo Nakirembeka lw’ayitawo naddala n’abeera ng’ow’ebyobufuzi kyokka ng’ate ateekeddwa kuba wa bya buwangwa.

 

Abataka batabuse ne batiisa okuzira okwetaba ku mikolo gya Buganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze