TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obufunda bw''olubiri butulemesezza okuluzimbamu ekisaawe ky''ennyonyi-Minisita

Obufunda bw''olubiri butulemesezza okuluzimbamu ekisaawe ky''ennyonyi-Minisita

By Musasi Wa

Added 5th May 2014

GAVUMENTI eggye enta mu by’okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi mu Lubiri e Mmengo mu Kampala.

2014 5largeimg205 may 2014 101003100 703x422Bya Muwanga Kakooza 

GAVUMENTI eggye enta mu by’okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi mu Lubiri e Mmengo mu Kampala.

Kino we kiggyidde ng’abamu ku Baganda bawakanya entegeka zino nga bagamba nti zijja kutaataaganya Olubiri.  Abataka abakulu b’obusolya be baasooka okusimbira entegeka zino ekkuuli.

Beegattiddwako abaana b’engoma nabo abaagenze ewa Katikkiro Charles Peter Mayiga okuwaayo ettoffaali ne balabula Katikkiro obutakkiriza ntegeka za kussa kisaawe kya nnyonyi mu Lubiri nga bagamba ennyonyi zijja kuleekaanira Kabaka n’ebifuta okumuwunyirira era Katikkiro n’abagumya nti Buganda tegenda kupapira ntegeka zino.

Wabula akulira ekitongole ky’ennyonnyi mu ggwanga ekya ‘’Civil Aviation Authority’’ Rama Makuza eyabadde ne minisita w’eggwanga ow’ebyentambula John Byabagambi yagambye nti gavumenti ejje enta mu ntegeka z’okussa ekisaawe mu Lubiri.

 

Minisita Byabagambi (Ku kkono) ne banne nga bali mu kakiiko

Baabadde mu kakiiko ka palamenti ak’ebyentambula nga baddamu ekibuuzo era omubaka Patrick Amuriat (Kaberamaido) kwe kubuuza wa entegeka zino we zituuse.

Gavumenti yasooka kutegeeza nga bw’egenda okwogeraganya ne Mmengo ku nsonga eno ng’eyagala okussaawo ekisaawe ky’ennyonnyi ez’omunda mu ggwanga zisobole okugwa mu Kampala ng’essira lissibwa ku Lubiri oba mu Namanve mu kifo kya zonna okubeera e Ntebe awagwa n’eziva ebweru w’eggwanga.

Wadde minisita Byabagambi yasoose okutegeeza nga Mmengo bwe yasimbira entegeka zino ekkuuli kyokka Makuza yagambye nti abakugu baakizudde nti Olubiri lufunda nga kizibu okussaawo ekisaawe ky’ennyonyi ne zifuna we ziddukira nga zigenda okubuuka oba okugwa.

N’agamba nti n’eby’okukissa mu Namanve nabyo bikyali bizibu kuba okutambula mu mmotoka okutuukayo oba okuvaayo kitwala ebbanga ddene olwa jjaamu.

Yagambye nti waliwo n’ensonga endala ez’ekikugu ezitangira ekifo ng’olubiri okussibwamu ekisaawe.

Yagambye nti okukubaganya ebirowoozo ku kifo ekituufu awasaanidde okussibwa ekisaawe kukyagenda mu maaso.

N’anokolayo Kajjansi w’agamba nti waliwo ennyonyi entono eziggwawo kati. Kabaka yassaawo akakiiko akaavunaanyizibwa ku nkulaakulana y’Olubiri kyokka ng’Abaganda bakyakubaganya ebirowoozo ku bizinensi ki eziyinza okussibwa mu Lubiri ne zitakosa byabuwangwa era nga zikuuma ekitiibwa ky’ekifo kino.

Olubiri lwali luwambiddwa gavumenti ya Obote mu 1967 era Pulezidenti Museveni ye yaluddiza Mmengo kyokka nga kati lulimu ebitooke ebitonotono ne Twekobe nga tewali nkulaakulana nnene erya awo ekolerwamu.

Olumu bavugiramu emmotfmoka z’empaka olulala ne mussibwamu ebivvulu.

Obufunda bw''olubiri butulemesezza okuluzimbamu ekisaawe ky''ennyonyi-Minisita

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono