TOP

Katikkiro Mayiga alaze Abalangira we bakoma

By Musasi Wa

Added 28th October 2014

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga ayatulidde Abalangira nti mu nnono za Buganda tebateekeddwa kusemberera wadde okuliraana Kabaka.

Bya DICKSON KULUMBA NE LILIAN NALUBEGA

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga ayatulidde Abalangira nti mu nnono za Buganda tebateekeddwa kusemberera wadde okuliraana Kabaka.

Yayongeddeko nti Abalangira era tebalina na kusemberera kiwu wadde Nnamulondo nga Kabaka tagituddeko kubanga bamanyiddwa nti okuva edda bayinza okukozesa omukisa guno ne bagiwamba.

Bino yabyogeredde mu lukiiko lwa Buganda eggulo, bwe yabadde ayanukula omubaka Ffeffekka Sserubogo eyasoose okutegeeza nga bwawulira nti Ssaabalangiratayisibwa bulungi.

Katikkiro yatangaazizza nti mu bitiibwa nga bwe biddiring’ana, Ssaabalangira ssi yasooka okwanjulwa, ayanjulwa oluvannyuma lw’okwanjula Mugema, ne kuddako Kasujju akuuma Abalangira olwo ye Ssabalangira n’ayanjulirwa mu Bataka abakulu b’ebika.

Mu lukiiko luno Katikkiro yalambise ebintu musanvu ebigenda okukolwako okuli okumaliriza ennyanja ya Kabaka, okukunga abantu okulima emmwaanyi, okwongera amaanyi mu kusimba emiti, okukwasanga abasika enkumbi mu nnyimbe, okwongera amaanyi mu nsiisira z’ebyobulamu, okumaliriza Amasiro
g’e Kasubi ne Wamala, okumaliriza Masengere n’okutandika okuddaabiriza amasiro amalala.

Era wajja kubeerawo n’okwongera amaanyi mu by’obulambuzi n’okufuba okulaba nti ebyassibwa mu ndagaano ne Gavumenti bissibwa mu nkola.

Yayogedde ku bisoomooza Obwakabaka omuli; ebyassibwa mu ndagaano wakati wa Kabaka ne Gavumenti okuba nti bingi ku bino tebinnassibwa mu nkola ng’ebyapa ebingi ebitannakomezebwawo, ebbanja eddene erikyabanjibwa, n’ebirala bingi.

Yayogedde ku bika n’agamba nti omukulu w’ekika yenna omupya assibwawo ateekeddwa kumala kuyisibwa wa Katikkiro olwo n’alyoka ayanjulwa ewa
Kabaka era okuggyawo abaddewo kisaana kukolebwa nga bayita mu kkooti ya Kisekwa.

Mu nteekateeka y’okutereeza emirimu e Mmengo, Katikkiro yalangiridde nti bagenda kugoba abakozi basatu olw’okukukusa fayiro za Kabaka.

jjjjjjjjjjjjjjjjjjj

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...