TOP

Engeri Buganda gy’etegekamu Omulangira alinze

By Musasi Wa

Added 10th October 2015

OMUKOLO gw’okukuza Bulungibwansi mu Ssaza lya Busiro ku Lwokuna gwabaddeko ekitali kya bulijjo Kabaka bwe yalabise n’Omulangira Richard Ssemakookiro era Katikkiro n’ayanjula Omulangira ono eri Obuganda.

EDWARD SSERINNYA NE DICKSON KULUMBA

OMUKOLO gw’okukuza Bulungibwansi mu Ssaza lya Busiro ku Lwokuna gwabaddeko ekitali kya bulijjo Kabaka bwe yalabise n’Omulangira Richard Ssemakookiro era Katikkiro n’ayanjula Omulangira ono eri Obuganda.

Abantu abaabadde babugaanye essanyu baakubye obuluulu n’abamu ne bawulirwa nga bagamba nti Omulangira jjambo agiwuuba nga kitaawe. Eno nno ntandikwa.

Omulangira wa Buganda ayita mu mitendera mingi okumuteekateeka.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda, Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante agamba nti, ennono ekuzibwamu Omulangira alindiridde Eηηoma weeri era eyawukana ku mulangira owa bulijjo gy’akuzibwamu kyokka teyaginnyonnyodde.

Omutaka w’e Kyaggwe Kavuma Kaggwa agamba nti, Omulangira alinze okulya Nnamulondo mu Buganda baamukulizinga mu kifo ekyekusifu, era ng’ensi temanya Mulangira oyo gy’abeera. Kyokka ekitabo Ekitiibwa kya Buganda ne Mutebi Kabaka wange kiraga nti Omulangira yakuliranga mu bantu be amanye embeera ze babeeramu ky’ova olaba nti Kabaka Mutebi baamutwala e Bugangaizi n’amalayo ebbanga, mu mbeera eza bulijjo ng’asoma n’abaana abatalina ngatto ekyamuwaliriza naye okulekera awo okuzambala.

Kino kyayambanga Omulangira okutegeera abantu be. Kabaka yennyini alaga abataka abakulu Omulangira gw’alowooza nti y’asaanye Nnamulondo era Ssekabaka Mwanga bwe yalaba ku Chwa nga yaakazaalibwa n’agamba abantu be yali nabo nti “Omuntu wammwe wuuno, omuntu wammwe wuuno” (Abateregga ku Nnamulondo) Kabaka y’alaga Omulangira mu bantu ku mikolo egitali gimu ate okwo gattako okwekubya naye ebifaananyi era ne bigenda mu lujjudde.

Kino Ssekabaka Muteesa II yakikola nnyo ku Kabaka ono Mutebi yamutwalanga ne mu lukiiko nga luggulawo n’abuuza ku Bataka.

Ng’oggyeeko ekyo, era Omulangira baba baagala abeerako n’abakopi, n’amanya ebizibu byabwe n’ebintu bye bayitamu kubanga bano be bantu b’aba agenda okukulembera. Eno y’emu ku nsonga lwaki Kabaka Mutebi yatwalibwa e Bugangaizi n’abeera n’Omumbowa Benardo Kibuuka ku kyalo Kagoogwa.

Dr. Adam Kimala nga ye Katikkiro w’Ekika ky’Emmamba agamba nti edda ennyo ng’ebintu tebinnakyuka, Omulangira bwe yakakasibwanga nti alina obubonero Nnaalinnya ng’adduka n’agamba mwanyinna (Kabaka) nti ozadde omutemu ( Omwana azze mu ndabika ey’enjawulo n’obubonero obufuusa Kabaka). Bw’amala okutegeera kino, Kabaka ayita Mugema, Kasujju Lubinga, Gabunga ne Mukwenda bwatyo n’agattako musajja we gwe yeesiga nti talina nsobi yonna gy’ayinza kukola.

Abantu abo abawa olunaku olw’okubasisinkana, mu nsisinkano eyo, n’Omulangira aleetebwa n’agamba musajja we (Yenna gw’aba aleese gwe yeesiga) nti twala Omuzaana oyo n’Omulangira obalabirire. Kino kikolebwa kubanga talina kukulira mu Lubiri.

Ssemakookiro ne Kabaka nga bawuubira Obuganda.

Mu nnono yaffe Omulangira oyo talagibwa okumwewaza ebizibu bingi kuba buli omu, ebika n’abalangira beeyagaliza obukulu buno. Alabikako ng’omusana guzikidde.

Mu ngeri y’emu mu nnono, Omulangira okulagibwa bwatyo kibeera kitegeeza nti wayinza okubaawo ekirowoozo ekirala ku nsonga eyo.

Omulangira Walugembe Golooba Njobe Kazawula, Omumyuka asooka owa Ssaabalangira: Omulangira akulira ew’omuntu ng’asobola okukuuma ebyama n’okukuliza Omulangira mu mbeera ey’obuntubulamu.

Okukuzibwa mu bisaakaate bino kimusobozesa okuyiga empisa ennungi n’okukola emirimu gyonna abasajja mu Buganda gye bakola okugeza nga okuyigga, okukomaga n’emirala.

Wabeerangawo abayinza okubasongamu engalo nti ono y’ayinza okufuuka Kabaka ne bafuna obuzibu olwekyo ng’okubakweka kibawonya bingi.

Bakuzibwa mu mbeera njawufu era n’abaana be bazannya nabo bakimanyi nti Balangira kyokka ng’ekirowoozo abakulu kye babalinamu tekimanyiddwa.

Abalala bakulira mu bisaakaate bya Bannalinya nga be bamanyi nti oyo omwana wa Kabaka ate n’olumu tebalagibwanga na bakungu olw’obwerinde obwabeerangawo.

Sir Apollo Kaggwa mu kitabo kye Empisa za Baganda ayogera ku kutegeka okw’enjawulo okufuna obuvumu nga mulimu n’okumutwala n’ayigga ensolo, okwesa ekyesoekimuyigiriza okubala n’obukodyo okutebuka abalabe be n’emikolo emirala egy’ekyama mu ky’ayita okukula okw’e Bukerekere.

Ensi egenze ekyuka nga Ssekabaka Mwanga ye yatandiikiriza enkola ey’olwatu ey’okulaga Omulangira alinze nga okuva olwo ezze egobererwa.

Kyokka ku mulembe guno owa ‘dot. com’ waliwo abagamba nti Omulangira alinze yandibadde akulira wa muntu munnamakolero ategeera obulungi tekinologiya ate ng’amanyi bulungi ebyobuwangwa ebinaatwala Buganda mu maaso. Naye oyo omusanga wa? Ggwe omumanyi? Weereza erinnya ku mukutu gwa e ogwa www.facebook. com/bukedde.ug oba ku website ya e eya www.bukedde.co.ug oba kozesa essimu oweereze ku 8338 olage gw’olowooza asaanye. Bwe baba beetaaga babiri owaamakolero n’owebyobuwangwa nabo balage.

 

Engeri Buganda gy’etegekamu Omulangira alinze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...