TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ebiseera eby’omu maaso eby’Obwakabaka biri mu busuubuzi n’okulonda obulungi mu kalulu kano

Ebiseera eby’omu maaso eby’Obwakabaka biri mu busuubuzi n’okulonda obulungi mu kalulu kano

By Ahmed Kateregga

Added 24th January 2016

KIKI kye tunaakola okukwatirako obukukulembeze bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga okutuusa Buganda ku ntikko? Omuntu omu yaηηambye nti bwe tuba tetunnaddamu kufuna federo era nga ne Gavumenti ya Buganda erina obuyinza tennaddawo, kino kiyinza okuba ekizibu.

Wano 703x422

Omukyala ng’agula lumonde mu katale. Mmengo esaanye yeenyigire butereevu mu kusuubula ebirime.

KIKI kye tunaakola okukwatirako obukukulembeze bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga okutuusa Buganda ku ntikko? Omuntu omu yaηηambye nti bwe tuba tetunnaddamu kufuna federo era nga ne Gavumenti ya Buganda erina obuyinza tennaddawo, kino kiyinza okuba ekizibu.

Omusomesa wange ow’essomo ly’ebyobusuubuzi, mu St. Victor’s S.S.S. Kitaasa e Bukomansimbi, omugenzi Ronald Semanda, yaη− ηamba nti kkampuni oba ekitongole okukozesa amannya nga “Royal,” “Imperial,” oba “National,” gaamalanga kufuna lukusa lwa Palamenti.

Kino tukijjukirira ku kkampuni ya East Africa Association eyali yatondwawo Sir William Mackinnon okusuubula mu buvanjuba bwa Afrika, okufuuka Imperial British East Africa Company (IBEA) mwe twagimanyira ennyo, ng’emaze kufuna lukusa lwa Palamenti.

Semanda, ng’Obwakabaka buzzeewo, yalondebwa okuba omwami wa Kabaka ow’omuluka gw’e Kassebwera, mu ggombolola y’e Butenga mu ssaza ly’e Buddu, era kwe yafi ira.

Ng’omu ku kaweefube w’okulwanyisa olunnabe lw’obwavu, endwadde n’obutamanya mu Buganda, ebitongole ebiri wansi wa Ssaabasajja Kabaka bisaaniddenga okumala okufuna olukusa okuva mu Lukiiko lwa Buganda.

Kino kitegeeza nti okufaanana ng’ebitongole n’amakampuni ga Gavumenti agassibwawo Ssemateeka n’amateeka amalala, bwe ganjula lipoota zaago mu Palamenti buli mwaka era ng’ebitabo byago byekenneenyezebwa omubazi omukulu ow’ebitabo bya Gavumenti n’oluvannyuma akakiiko ka Palamenti akeetereza ennyingiza n’ensaasaanya, n’ebitongole bya Buganda ebibadde bitannakikola, bisaanidde okwanjulanga lipoota zaabyo mu Lukiiko n’okubalirirwa n’okwekenneenyezebwa obukiiko bwalwo.

Ate omusomesa wange ow’ebyamateeka mu mu yunivasite e Makerere, Polof. Frederick Jjuuko, yatusomesa nti Obwakabaka bwa Buganda n’obufuzi obulala obw’ensikirano obuliwo mu Ssemateeka wa Uganda, bukulembeze obwetongodde, obulina obuyinza bw’okuwaaba n’okuwawaabirwa.

Polof. Jjuuko yagamba nti obumu ku bukulembeze obulala bw’amanyi mu Ssemateeka, obuliwo mu ngeri eno, bwe bwassaabalabirizi bw’Ekkanisa ya Bungereza.

Kino kitegeeza nti obwabakaka bwa Buganda nga bwe buli kaakati okusinziira ku Ssemateeka wa Uganda, bwetengeredde nga bulina Kabaka, abakungu, Abataka , Olukiiko n’ebitongole ebyetengeredde.

Mu ngeri eyo, ekitongole kyonna oba kkampuni yonna egamba nti ya Bwakabaka bwa Buganda, esaanidde okubaamu emigabo egitakka wansi wa 51 ku buli 100 nga gya Bwakabaka obutereevu, oba okuyita mu bika 56 oba amasaza g’ennono 18.

Olwo emigabo egisigaddewo gisobola okubeera egy’obwannannyini, nga gya bamusigansimbi aba kuno n’abagwira.

MMENGO EGULE EMIGABO MU MAKAMPUNI GA GAVUMENTI

Okusinziira ku nteekateeka ya ‘Kikwekweto Gaggawala” eky’okugoba obwavu ekikulemberwa omuwabuzi wa Pulezidneti omukulu ku byokulonda n’obutebenkevu awamu n’enkola ya Bonna Bagaggwale, Gen. Salim Saleh, ekitongole kya Uganda Development Corporation, ekimu ku bitongole Buganda bye yalinamu emigabo nga tennasangulwawo mu nsasagge ya 1966/67, kyazziddwaawo n’obuwumbi 500 nga ku zo obuwumbi 250 za kulongoosa birime ebitundwa ebweru.

Buganda esaanidde okuddamu okukigulamu emigabo kisobozese abasajja n’abazaana ba Kabaka okuyambwako mu nnima, ennunda n’envuba ey’omulembe n’okulongoosa ebinaatundwa ebinaatundwa kuno n’ebweru.

Kino kye kikolebwa Omulangira Aga Khan, omukulembeze w’Abasiraamu Abasimayiri, nnyini makampuni nga IPS, Diamond Trust, Gold Trust, Nation Media Group n’ebitongole ebitumbula embeera z’abantu ng’amasomero n’amatendekero ga Aga Khan agali wansi w’ekitongole kya Aga Khan Foundation.

Kyokka okuddawo kw’Obwakabaka bwe kwali kukyali gannyana, Polof. Apolo Nsibambi yaleeta ekirowoozo waakiri Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi ll agire ng’abeera nga Aga Khan, okutuusa ng’ekikutte obudde kibutadde.

Ekyo Abaganda baakigaana ne bagamba nti baali baagala kuddizibwa Bwakabaka obulambikiddwa obulungi ensalo ku maapu ya Uganda, era nga kino Ssemateeka wa 1995 yakikola.

Mu kulaba kwange singa abantu ba Buganda muyiira Pulezidenti Museveni n’awangulira waggulu akalulu kano abamuvuganya n’abakuba tonziriranga, ne tutakaddamu gwakubiri, Buganda by’ekyamubanja bijja kuba byangu bya kugiddiza.

Newankubadde okusunsulamu kw’abaneesimbawo mu NRM kwalimu emivuyo mingi ne kireetera bangi ababbibwa okwekyawa ne beesimbawo ku lwabwe, NRM era y’ejja okusinza ababaka abangi mu Palamenti nga ne bangi ku beesimbyewo ku lwabwe, singa ababaka abanaasinga mu Palamenti banaaba ba NRM ka babe abo abeesimbyewo ku lwabwe, era ne kiba kye kimu ne mu nkiiko za Gavumenti ez’ebitundu, eky’okuzzaawo Gavumenti ya Buganda erina obuyinza bw’ebyobufuzi ng’erina Olukiiko olulina obuyinza bw’okukola amateeka kijja kwanguwa.

Omuwandiisi ye mukwanaganya wa bakakuyege ba NRM mu South Buganda omuli Bukomansimbi, Kalungu, Masaka ne Kalangala wansi wa NRM Buganda Regional Task Force.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...