TOP
  • Home
  • Buganda
  • Nnaalinnya awadde Katikkiro nsalessale wa nnaku 4 ku by'Amasiro g’e Kasubi

Nnaalinnya awadde Katikkiro nsalessale wa nnaku 4 ku by'Amasiro g’e Kasubi

By Dickson Kulumba

Added 2nd February 2016

Namikka eyatuuse ekikeerezi ku mukolo Mayiga kwe yalambulizza Obuganda omulimu ogukolebwa mu masiro gano yagambye nti “ Ebigambo byanzigwako era ng’enda kw’ogera bitono.

Kasubi1 703x422

Mayiga ng'aliko byagamba Nnaalinya Namikka oluvannyuma lw'omukolo gw'okulambuza Obuganda ebikolebwa e Kasubi. Ekif: Dickson Kulumba

NNAALINNYA w’Amasiro g’e Kasubi, Beatrice Namikka awadde Katikkiro, Charles Peter Mayiga nsalessale wa nnaku nnya okutuusa Olwokutaano February 5, 2016 nga bwe wataabeerawo ky’ongerwa ku nju Muzibwazaalampanga, agenda kweddiza omulimu guno.

Namikka eyatuuse ekikeerezi ku mukolo Mayiga kwe yalambulizza Obuganda omulimu ogukolebwa mu masiro gano yagambye nti “ Ebigambo byanzigwako era ng’enda kw’ogera bitono.

atikkiro ayiga yazzeemu okusaba abatwala masiro ge asubi okulaba nga bakwatagana omulimu guggwe omwaka guno nga abaka bwe yalagira Katikkiro Mayiga yazzeemu okusaba abatwala Amasiro g'e Kasubi okulaba nga bakwatagana, omulimu guggwe omwaka guno nga Kabaka bwe yalagira.

 

Omulimu guno gukandaliridde era abaguliko mbawadde okutuusa ku Lwokutaano, Katikkiro bw’obeera tosobola kubagambako, ng’enda kugwekwatiramu...” Nnaalinnya yakozesezza omukolo guno n’ayanjula Abalangira Abagabe, Kabaka be yamuweereza okumuyambako ku mulimu gw’e Kasubi okuli Ssemakookiro, Moses Walugembe ne Nakibinge n’abalala ababeera mu masiro, yabasabye okubeera obulindaala singa Olwokutaano lutuuka.

Katikkiro w’Amasiro g’e Kasubi, Ssaalongo Mulumba ye yasoose okwogera n’agamba nti, “Ssebo Katikkiro Abaganda tusaanye okweggyamu enkola y’okuteesa ku ky’okukola ate oli ekimuli ku mutima ne kibeera kirala.

 ayiga ngafuluma uzibu zaalampanga Mayiga ng'afuluma Muzibu Azaalampanga.

 

Enkola eno ezzizza Buganda emabega era buli lukya eginnyika.” Ebigambo by’abakulu bano ababiri abavunaanyizibwa ku masiro byewuunyisizza bangi ate abalala ne baseka n’okukuba mu ngalo empolaampola.

Mayiga bwe yatuuse okwogera, yeebazizza Namikka olw’ebigambo eby’obuvumu by’ayogedde n’okulaga okuyaayaana okulaba ng’Amasiro gamalirizibwa nga Kabaka bwe yalagira nti galina okumalirizibwa omwaka guno.

atikkiro nga yakatuuka ku asiro e asubi nga ebruary 1 2016 Katikkiro nga yakatuuka ku Masiro e Kasubi nga February 1, 2016.

Minisita w’ebyobuwangwa, amasiro n’obulambuzi, Denis Walusimbi Ssengendo yasoomoozezza abantu okugoberera obuwangwa bwabwe kuba kwe kutambulira buli kintu era n’ekirwisizaawo omulimu, kwerabirwa kw’ennono.

SSENTEBE W’OLUKIIKO OLUZIMBA ANNYONNYODDE:

Oluvannyuma lw’ebigambo bya Nnaalinnya, Ssentebe w’Olukiiko oluvunaanyizibwa ku kuzzaawo Amasiro gano, Hajj Kaddu Kiberu yategeezezza nti ye ng’ali mu buvunaanyizibwa buno, tagenda kukkiriza kukola mulimu gutatuuse.

 uzibu zaalampanga efaanana bweti bakulira masiro tebakyakkiriza bannamawulire kutuuka mu kifo kino kyolaba bifaananyi byonna bya ickson ulumba Muzibu Azaalampanga efaanana bweti. Abakulira Amasiro tebakyakkiriza bannamawulire kutuuka mu kifo kino kyolaba. Ebifaananyi byonna bya Dickson Kulumba

 

Yagambye nti obuvunaanyizibwa bw’omulimu guno buli ku ye wadde nga tasasulwa naye ayagala kukola kintu kituukiridde.

Yayongeddeko nti balina okukimanya nti waliwo n’ebirala bingi ebikolebwa mu kiseera kino n’ebinaakolebwa nga byali tebyateekebwa mu mbalirira ne pulaani eyakolebwa mu kusooka ng’ate ebintu bya Muzibwazaalampanga bizibu tebyaliko buwandiike bwakugoberera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

2016manuvbournemouthbailly 220x290

AC Milan ayingidde olwokaano lw'okugula...

Bailly yava mu Vallrreal eya Spain okwegatta ku ManU.

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana