TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mmengo eyagala ekya Federo kissibwe mu Ssemateeka

Mmengo eyagala ekya Federo kissibwe mu Ssemateeka

By Dickson Kulumba

Added 13th February 2016

Omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Buganda, Apollo Makubuya nga ye ssentebe w’akakiiko ka Mmengo akapya akakola ku nsonga eno, yagambye nti baagala abeesimbyewo boogere we bayimiridde ku nsonga eno.

Federo1 703x422

Omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Buganda, Apollo Makubuya

MMENGO ezzizza enfuga ya Federo mu ddiiro nga kati kaweefube gw’eriko wa kulaba ng’essibwa mu Ssemateeka wa Uganda.

Omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Buganda, Apollo Makubuya nga ye ssentebe w’akakiiko ka Mmengo akapya akakola ku nsonga eno, yagambye nti baagala abeesimbyewo boogere we bayimiridde ku nsonga eno.

Makubuya, era Minisita w’Ebyamateeka e Mmengo, yagambye nti kino kitegeeza Ssemateeka alina okukyusibwa, enfuga ya Federo eteekebwemu n’ayongerako nti yokka y’egenda okwongera okutumbula obuweereza eri Bannayuganda.

Ku Mmande, Katikkiro Charles Peter Mayiga yalangiridde akakiiko akagenda okulaba nga Buganda efuna Federo n’akalagira okukola n’amaanyi.

Mu nnongoosereza ya Ssemateeka mu 2005, abantu ba Buganda baatwala ebirowoozo mu kakiiko akaali kakulemberwa munnamateeka Fredrick Ssempeebwa nga baagala, Federo erambikibwe ng’enkola y’obukulembeze mu Buganda.

Ku nsonga eyo Makubuya yategeezezza nti, “Ebirowoozo nga bwe byaweebwa Odoki ne Ssempeebwa bwe twagala biteekebwe mu Ssemateeka.

We tuzze tuyimirira era we tukyayimiridde. N’olwekyo, tusaba Bannabyabufuzi ku mitendera gyonna okwegatta ku nsonga eno, egguke.”

Mmengo eyaniriza buli kitundu kya Uganda ekyettanira federo, okugyegattako kyokka abo abatagyettanira, tebabawaliriza.

Bayinza okusigala gye baagala, era Makubuya yasabye buli alina ekirowoozo okukitwala mu ofiisi e Mmengo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...