TOP
  • Home
  • Buganda
  • Abakugu balaze engeri okulumba olubiri mu 1966 gyekukosezzaamu Buganda n'Abaganda

Abakugu balaze engeri okulumba olubiri mu 1966 gyekukosezzaamu Buganda n'Abaganda

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2016

Abakugu balaze engeri okulumba olubiri mu 1966 gyekukosezzaamu Buganda n'Abaganda

Bug1 703x422

Empuku Idi Amin gye yazimba mu Lubiri e Mmengo mwe battiranga abantu.

OBOTE okulumba Olubiri lw’e Mmengo nga May 24, 1966 kye kimu ku bintu ebyakosa Obuganda n’okutuusa kati.

Nga wayise emyaka 50 bukya kikangabwa kino kigwawo, Bukedde leero atandise okukutuusaako emboozi eziraga engeri Buganda gye yakosebwamu mu mbeera z’abantu, ebyenfuna, ebyobuwangwa n’ebyobufuzi ne tulaga n’engeri abantu ba Buganda gye beegasse okuzimba Buganda empya. Wiiki eno tulaze engeri embeera z’abantu mu Buganda gye zaakyukamu era LAWRENCE KITATTA atandise na nkuza ya baana.

EKITIKKIRO kya Buganda ye Kabaka, y’akuuma empisa, obulombolombo n’obuwangwa bw’Abaganda. Y’ensonga lwaki mu 1966 nga Obote amaze okulumba Olubiri, Ssekabaka Sir Edward Muteesa II n’awaηηangusibwa e Bungereza, obulamu n’embeera z’Abaganda zaakyuka nnyo.

Ku bantu abangi abaafi ira mu Lubiri n’abaana baalimu; abalala abaalimu obulamu bwabwe bwakyuka nnyo, olwo ne kikosa enkuza y’abaana wonna mu Buganda. Rev. Can. Augustine Musiwuufu Magala, Ssaabadinkoni w’e Kazo agamba nti okulumba Olubiri kyakosa nnyo obuwangwa bw’Abaganda era bingi ebyali bikolebwa ebyatandika okulabibwa ng’ebitakyalina makulu mu Buganda.

“Buganda yali eyaniriza buli muntu ajjamu, ng’omugenyi bw’akyala awaka omwaniriza bulungi naye Obote kye yalaga Abaganda twatandika okwekengera abantu. Ate abazadde baayogeranga n’abaana bawulira nti kale omuntu gwe twayaniriza obulungi kati y’atukaabya amaziga! Kabaka y’entabiro era ke kasolya ka buli kimu.

Bwe yava mu nsi ye Abaganda ne baggwaamu amaanyi n’engeri gye baalambikangamu abaana baabwe n’enafuwa. Buli omu yadda mu kwekubagiza. Kuba buli omu yali omwana amukuza amugamba Omuganda by’alina okukola ne by’atalina kukola kyokka bino byonna olwaggwawo ne baggwaamu amaanyi,” Can. Musiwuufu bw’agamba.

Samuel Kigumba Lubowa 78, ow’e Mpumu mu Kyaggwe agamba nti okukuza omwana Omuganda omulimu ogusooka gwakolebwanga bazadde. Abalenzi nga basinga kubeera ne bakitaabwe ate abawala na bannyaabwe. “Oluvannyuma lw’okulumba Olubiri, ebintu bingi mu nkuza y’omwana Omuganda byaggwaawo.

Luli ng’abaana tubatwalako mu bakitaabwe oba bassenga ne babakuza mu ngeri endala eteri ya maka we bazaalibwa. Kati bino byaggwaawo, ate kyatandika na kulumba Lubiri kubanga kyaleetawo akasattiro mu Buganda, abaana abamu ne batakula na bazadde baabwe, abalala ne baggwaamu omwoyo ogulumirwa ekika n’oluganda,” bw’agamba. Lubowa agamba nti mu maka agedda mw’asobolanga okubaamu abaana nga 30, naye ng’abamu bava mu baaluganda, ab’emikwano n’abalala.

Kati okusindika omwana ew’omuntu omala kusiba mutima! “Omusajja ng’ayinza okuwasa omukazi n’amuwa abaana abatali babe n’abakuza n’otomanya nti si babe, naye kati buli muntu yafuna ogutimatima, byonna byatandika mu 1966,” bw’agamba.

Omutaka w’e Kyaggwe Kavuma Kaggwa agamba nti wadde okusiiga abaana mu Lubiri teryali kkatala, naye Obote bwe yalumba Olubiri n’alukuba, omutendera guno ogwasomesanga abaana ebyobuwangwa, enkola y’emirimu, obukulembeze n’okumanya abakulembeze gwaggwaawo.

“Mu bukulembeze, abazadde beekenneenyanga nnyo abaana naddala anaabeera omusika.Gw’aba alonze nga tamuva ku lusegere. Mu nkola eno omwana yayiganga ebintu bingi, naye Olubiri bwe lwalumbibwa, ensi n’etabanguka nga kizibu okutambula n’abaana sikulwa mufa mwenna,” bw’agamba.

 wekobe mu ubiri lwe mengo eyakolebwa mu 1999 Twekobe mu Lubiri lw’e Mmengo eyakolebwa mu 1999.

 Olaba n’okulonda omwana wa muganda wo okukusikira ennaku zino kizibu olw’obukumpanya obucaase! Geraldine Nalumansi Kalyango ow’e Bweyogerere agamba nti omwana eyakuliranga mu maka Amaganda nga tayita ku bantu nga tababuuzizza nga bwe guli mu kiseera kino. “Edda ng’ekyalo kye kikuza omwana, nga n’omuyise ssinga amulaba ng’akola ebitali ku mulabwa amugunjula.

Kati bw’okikola bakutwala ku poliisi, naye nga bino byatandika na kulumba Lubiri,” bw’agamba. Agamba: Obote yatukola bubi! Luli omwana tayingira mu mboozi z’abakulu. Ng’omwana ne bw’asajjakula nga tanneezimba nga tayogerera mu bantu bakulu. Abaana ab’obuwala tebasobola kufumba, tebayonsa baana.

Ebintu byakyuka lwa bantu abangi abaayiika mu Buganda, ne bajoonyesa Abaganda ne batuuka n’okuswalira empisa zaabwe.” Lubowa Kigumba agamba nti luli ng’abazadde bakuza abaana abalenzi kubeera bakulembeze, kati abazadde bangi tebafaayo oba babakuzizza batya! “Luli nga tukuza abaana basobole okukwatagana n’okunyweza ekika, kati omwana alowooza ekika be bantu ababeera mu maka gaabwe,” bw’agamba.

OMWANA OMUWALA Victoria Kisalale, akulira Gayaza High School agamba nti mu bulamu bw’omwana omuwala, maama wa nsonga. Nze nzaalibwa Sseguku era we nakulira ng’amaka naddala maama nga ly’essomero erisooka mu bulamu bw’omwana. “Bingi bye nkozesa kati nnabiggya mu maka gye nnakulira.

Naye embeera ekyuse nnyo, abantu babeera ku mizigo, abazadde bakola nnyo ne beerabira okukuza abaana baawebw’agamba. Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka e Mmengo, Henry Ssekabembe Kiberu agamba nti Obote okulumba Olubiri mu 1966 lyali kkonde ddene, abantu abagundiivu bangi battibwa ne kireka abaana bangi abakula ebiseera ebyo nga tebalina bazadde abandibakuzizza mu ngeri ennungi. “Amaka ge gandibadde gavaamu abantu abalungi, abeegasse naye oluvannyuma lw’okulumba Olubiri, amaka mangi gaayuuzibwayuuzibwa buli muntu n’abeera ku lulwe.

Ennaku zino kifuuse kizibu okuzza engulu amaka kuba abakyala bangi beeyombekedde, kati omwana akula talina kya njawulo ky’afuna. Ffe we tukulidde ng’amaka ye gavumenti esooka, nga taata alina obuvunaanyizibwa bwe ne maama alina obubwe. Ekirina okukolebwa kwe kuddamu okufuna abatuuze abalungi, abakuziddwa ku musingi omunywevu.

Tulina kuddayo mu maka kuba ky’ekisumuluzo kya buli kimu okusobola okuddamu okufuna abatuuze ab’obuvunaanyizibwa. Abazadde batuuleko n’abaana baabwe babalage ekirina okukolebwa kuba bakimanyi naye amaka gye ganaakoma okwekutulakutula, abakyala ne badda mu mizigo bokka n’abaana baabwe ekizibu kikyali kya maanyi gye tuli,” bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...