TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka alonze olukiiko olw'okutegeka amatikkira ag'omulundi 23

Kabaka alonze olukiiko olw'okutegeka amatikkira ag'omulundi 23

By Dickson Kulumba

Added 14th May 2016

Kabaka alonze olukiiko olw'okutegeka amatikkira ag'omulundi 23

Luk1 703x422

MMENGO eronze ssabawolereza wa Buganda ow'ekitiibwa Daud Mpanga okukulemberamu olukiiko olugenda okutegeka amatikkira ga Kabaka ag'omulundi ogwa 23 ag'okubeera mu Ssazza e Butambala nga 31 jully 2016.

Ng’ayanjula olukiiko luno, Katikkiro Charles Peter Mayiga yalusabye okulaba nga bategeka omukolo ogunaweesa Obwakabaka ekitiibwa ng'essira balina okulissa ennyo ku bintu omuli emizindaalo, obutebe, entuula y'abantu ssaako n'obudde.

Mayiga yagambye nti “ Tugenda kujjaguza Matikkira ag’omulundi ogwa 23 era olukiiko Kabaka lweyasiimye tululinamu obwesige okuteekateeka omukolo omulungi.”

Mpanga ku lwabanne yategeezezza nga bwebali abetegefu okuweereza mu bwami buno obubawereddwa okutuuka ku bigendererwa ebyabalonzezza omuli n’okuwa ebirowoozo ebirungi ebinaweesa omukolo ekitiibwa.

Minisita Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ye Mumyuka wa Ssentebe. Abalala kuliko Omumyuka w’Omuwanika Mulema Mukasa, Hajjat Mariam Mayanja,Katambala Twaha Lwanyaga nga bano bawereddwa obuvunanyizibwa okugattako abalala abanakola emirimu. Amatikkira g’Omulundi guno, Kabaka yasiimye gabeere mu ssaza ly’e Butambala nga July 31,2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko