TOP

Ab’ebweru temwerabina nnono - Kabaka

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2016

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akubirizza Abaganda erinaabajjukizanga ensibuko yaabwe n’okukuuma ennono.

Mutebi7034221 703x422

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akubirizza Abaganda erinaabajjukizanga ensibuko yaabwe n’okukuuma ennono.

Obubaka bwasomeddwa Omumbejja Joan Nassolo eyabadde ne Katikkiro Charles Peter Mayiga n’abakungu b’e Mmengo abalala, mu kulambula kwe baliko mu mawanga okuli; Scotland, Bungereza, Denmark ne Netherlands.

Ng’oggyeeko okukuuma ennono, Maasomoogi era yakubirizza abantu be ab’ebweru okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka nga Katikkiro Mayiga bw’anaabalambika.

Katikkiro yeebazizza ab’e Scotland ne Manchester olw’okuweereza “Tetujja kulinda bintu kutereera tulyoke tuveeyo tuweereze kuba ebyo ebitateredde mulimu gwa abavaayo ne baweereza mu buli mbeera,” bwe yagambye.

Abamu ku be yagenze nabo mulimu; abakungu ba Buganda Twezimbe, ssentebe w’olukiiko lw’Abaamasaza David Ssekyeru, ab’ebitongole by’Obwakabaka okuli Kiwalabye Male akulira ekitongole kya Buganda ekikola ku by’ettaka (Buganda Land Board).

Omubaka wa Kabaka atwala Bungereza (UK), Ronald Lutaaya n’omumyuka we atwala Manchester, Enock Kiyaga be baayanirizza Katikkiro era ne bamwebaza olw’okutumbula Buganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...