TOP

Mmengo egabidde abayizi 700 bbasale

By Dickson Kulumba

Added 5th August 2016

MMENGO egabidde abayizi abasukka mu 700 bbasale, Katikkiro n'abakubiriza okussa omwoyo ku by’okusoma baleme kuswazibwa nga bannabyabufuzi abamu ensangi zino be Palamenti be yasudde ettale lwa biwandiiko bya buyigirize kweveera!

Basale2 703x422

Ambaasada Ssendaula ng'akwasa omu ku bayizi bbasale. EKIF: DICKSON KULUMBA

MMENGO egabidde abayizi abasukka mu 700 bbasale, Katikkiro n'abakubiriza okussa omwoyo ku by’okusoma baleme kuswazibwa nga bannabyabufuzi abamu ensangi zino be Palamenti be yasudde ettale lwa biwandiiko bya buyigirize kweveera!

Amb. Emmanuel Ssendaula nga ye mumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda y'akwasizza abayizi bano amabaluwa agabatwala mu matendekero agawaggulu ku mukolo ogwabadde e Bulange-Mmengo ku Lwokuna August 4,2016.

“ Twagala musse essira ku misomo kubanga obutasoma buluma bukulu. Bannabyabufuzi abagobwa mu Palamenti batuswaza olw’obutabeera na biwandiiko. N’olwekyo tetwagala gye bujja ate okuwulira nti mu bantu ba Kabaka be yasomesa ku nsawo ye ey’ebyenjigiriza mulimu abaggyiddwa mu bifo eby’enkizo lwa butabeera na biwandiiko bya buyigirize,” Ssendaula bwe yannyonnyodde.

Ye Minisita w’ebyenjigiriza era nga ye mumyuka ow’okubiri owa Katikkiro, Dr. Twaha Kaawaase yategeezezza nti Kabaka aweerera abayizi babiri okuva mu buli disitulikiti ya Uganda okugenda mu Muteesa I Royal University era bw'atyo n'asaba bassentebe wamu n’abakulira emirimu mu disitulikiti okukozesa omukisa guno ng’okusoma tekunnatandika baleete abaana basome.

Mu bbasale ezaagabiddwa, Muteesa I yatutte abayizi 350 ne basigaza ebifo by'abayizi 1500, Buganda Royal Institute baatutte 200 nga basigaza ebifo by’abayizi 800, Stafford University 68, Multitec 59, Destiny Institute 17 ate Ndejje University 2 nga bano ba ssayansi wamu n’amatendekero amalala.    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta