TOP

Kabaka aggalawo leero ekisaakaate

By Dickson Kulumba

Added 15th January 2017

Kabaka aggalawo leero ekisaakaate

Ku1 703x422

Katikkiro ng'akyalidde abaana b'ekisaakaate

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebikolobero okuli ettemu,obubbi n'obugwenyufu ebikolebwa ensangi biva ku kuba nti ababikola tebafuna mukisa gwa kubuulirirwa bwatyo n'asaba buli muntu okuwagira omulimu ogukolebwa Ekisaakaate.

Bino yabyogeredde ku Janan SS e Bombo-Kalule mu ssaza ly'e Bulemeezi ku Lwokutaano January 13,2017 bweyabadde akyalidde abaana abali mu Kisaakaate nga kino Kabaka agenda ku kiggalawo leero Ku Ssande

Mayiga yagambye nti " Uganda ne Buganda biri mu kusomoozebwa nti abantu bakola ebikolobero lwa butabeera na Obuntubulamu n'okuba nti tebafuna mukisa kugunjulwa.

Enteekateeka eno ey'Ekisaakaate tulina okugiwagira egende mu maaso ebiseera byaffe eby'omumaaso bibeere birungi. "

Katikkiro yasomesezza abaana bano Ennyingo y'Obweruufu kyayogeddeko ng'okukola ekituufu mu budde bwakyo n'abakuutira okwewala okulimba,okutwala ebitali byabwe, wamu n'okuwulira ebibagambwa abazaddde baabwe.

 

Ye Ssentebe w'Ekisaakaate Kabuuza Mukasa yategeezezza nti Abaana basabye ebeere nkola ya Kisaakaate,buli Lwakutaano lusembayo mu wiiki eggalawo Ekisaakaate, Katikkiro ebeerenga agenda abeeko byasomesa abaana bano

Omwana Abdul Nakibinge yeyabadde kalabaalaba w'Omukolo nga Dayirekita w'Essomero lino Mike Kironde yebazizza Obwakabaka olw'Omukisa guno wamu  ne Katikkiro okuggulawo ekisuulo ky'abaana abalenzi nga kyatuumiddwa Kiweewa Jjunju.

Omukolo gwabaddeko Deborah Sserwadda akulira Nnabagereka Development Foundation n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sonso 220x290

Amagye gasse ababbi 4 omulundi...

Yabadde nga firimu eya “ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama,” amagye bwe gaabadde gakubagana n’ababbi e Mutundwe eggulo....

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...