TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka akyusizza ennyimba y'ekitiibwa kya Buganda

Kabaka akyusizza ennyimba y'ekitiibwa kya Buganda

By Dickson Kulumba

Added 31st January 2017

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye era n'akakasa ennyimba enaagobererwanga mu kuyimba Ekitiibwa kya Buganda ng'eyawuddwamu ebiti bisatu.

Waayo1 703x422

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng'awuubira Obuganda. EKIF: DICKSON KULUMBA

Ennyimba esooka; ebitundu by'oluyimba luno ebitaano byakumalibwangayo ku mikolo okuli okujjukira Amatikkira ga Kabaka, okuggulawo olukiiko lwa Buganda n'okukuza Amazaalibwa ga Kabaka.

Bino byayanjuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yabadde alambulira Obuganda ebigenda mu maaso nga yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda olwatudde ku Mmande ya wiiki eno January 30, 2017 e Bulange - Mmengo.

Mayiga yagambye nti ennyimba eyookubiri mwe muli emikolo okuyimbirwa ebitundu bisatu: ekisooka, ekyokuna n'ekyokutaano nga gyegyo Kabaka gy'alabikako ng'oggyeeko egimenyeddwa waggulu.

Ate ennyimba eyookusatu y'enaaberanga ku mikolo emirala gyonna egya Buganda nga gya kuyimbirwangako ebitundu bibiri nga gitandika; Ekisooka (Okuva edda n'edda…) n'ekyokuna (Nze nnaayimba ntya ne sitenda….) ate mu kuggalawo, ekitundu ekisembayo ( Katonda omulungi ow'ekisa…), kiyimbibwenga.

Mu ngeri y'emu, Mayiga yagambye nti omwaka guno Obwakabaka bugenda kuteeka amaanyi mu bulimu bw'emmwanyi mu ηηombo etuumiddwa  'EMMWANYI TERIMBA'.

" Omwaka guno tuluubirira okusimba endokwa obukadde butaano. Tugenda kwenyigira mu kulondoola emmwanyi okuva ku kutegeka ennimiro ate emisiri gy'emmwanyi egiriwo twagala okugizza obuggya," Mayiga bwe yannyonnyodde.

Ku nkola y'emirimu, Mayiga yagambye nti ayagala ebitongole byonna okugoberera enkola y'obweruufu kubanga ekizibu ky'Obwakabaka si z'ensimbi entono ezifunibwa wabula n'engeri gye zisasaanyizibwamu, nkulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...