TOP
  • Home
  • Buganda
  • Katikkiro Mayiga asabye Gavt. ku ttemu eryakoleddwa ku Mubugirizi wa Kabaka

Katikkiro Mayiga asabye Gavt. ku ttemu eryakoleddwa ku Mubugirizi wa Kabaka

By Dickson Kulumba

Added 6th February 2017

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti wateekwa okubeerawo okufungiza okulwanyisa ettemu mu ggwanga kubanga liremesa enkulaakulana.

Bayo1 703x422

Abantu nga batwala omulambo gwa Mugerwa (MU KATONO) e magombe. EKIF: DICKSON KULUMBA

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti wateekwa okubeerawo okufungiza okulwanyisa ettemu mu ggwanga kubanga liremesa enkulaakulana.

Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka, Henry Ssekabembe Kiberu mu kuziika omugenzi Godfrey Mugerwa Maliba  ‘Hassan’ ku kyalo Lunene mu Muluka gw’e Nkoma e Mpenja- Gomba ku Ssande February 5, 2017.

Mayiga yayogedde ku mugenzi nti “Abadde n’ekiruubirirwa eky’okuzzaawo ekitiibwa kya Pikipiki eziwerekera Kabaka ng’ezaaliwo ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II. Obuwereeza buno abadde abukola awatali kusasulwa.”

Ssekabembe mu bigambo bye yagasse eddoboozi lye ku bakungubazi abalala okusaba Poliisi okwongera amaanyi mu kunoonyereza baani abatta abavuzi ba Bodaboda era n'atendereza Maliba okutandika ekibiina ekiwerekera Kabaka kyokka mu 2015 n'awaayo obuyinza nga kati Musa Lubega ye ssentebe kyokka ng’abadde atambulira bulungi n’obukulembeze obuggya.

Minisita Ssekabembe yagambye nti “ Ffena abantu ba Kabaka tulina okweyongera okubeera obumu kubanga yatugatta.”

Ye Omutaka Ying. Allan Waligo Nakirembeka yasabye Bannakibiina abasigaddewo okugenda mu maaso n’omulimu gw’okukuuma Kabaka era n'akulemberamu abakungubazi ne bayimba Ekitiibwa kya Buganda nti gwe mudaali gwe bamuwadde.

Abaserikale abakuuma Kabaka nga baakulembeddwamu Capt. Stanley Musaazi bassizza ekitiibwa mu mugenzi nga bamukubira saluti ate ye Kaggo Patrick Mugumbule ku lw’Abaami b’amasaza banne yasabye e Mmengo wateekebweyo ejjinja okuwandiikibwa amannya g’abantu abazira abatatiiririra Kabaka waabwe.

Mugwerwa yazaalibwa mu 1985 nga yaleese omwana omu Joseph Lukwago  gwe yazaala mu Peruth Naddibya kyokka ng’ebiseera bino abadde abeera ne Agnes Nakivumbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba