TOP

Nnaabagereka ekisaakate akitutte South Afrika

By Dickson Kulumba

Added 27th March 2017

NNABAGEREKA Sylivia Nagginda atutte Ekisaakaate e South Africa mu kaweefube gw'aliko okubunyisa Obuntubulamu mu Bannayuganda nga kigenda kutandika nga April 1-4,2017.

Pale 703x422

Aba South African Airways nga bakulembeddwamu Yewagnesh Biriggwa (owookubiri okuva ku ddyo)- akulira ekitongole kino mu Uganda ne Stella Nayiga Kasibante (ku ddyo) nga bakwasa abakulira Nnabagereka Development Foundation okuli Dr. Jeff Ssebuyiira (akulira bboodi) ne Deborah Kaddu Serwadda (ow'okubiri okuva ku kkono) ceeke etwala Abagunjuzi bana e South Africa mu Kisaakaate kya Nnabagereka. Omukolo gwabadde Bulange- Mmengo ku Mmande March 27,2017. EKIF: DICKSON KULUMBA

Deborah Kaddu Serwadda nga y’akulira emirimu mu Nnabagereka Development Foundation (NDF) ategezezza nti:

“ Abaana 108 be bagenda okwetaba mu Kisaakaate kino ekisookedde ddala ku lukalu lwa Africa, wabweru wa Uganda. Ku bano, Abasaakaate 12 si Bannayuganda wabula bannansi b’e South Africa era tuli basanyufu nti balabye omugaso mu nteekateeka ya Maama Nnabagereka ne bagyeyungako.”

Bino abyogeredde mulukung'aana lwa bannamawulire e Bulange- Mmengo ku Mmande March 27, 2017, n'alangirira nga South African Airways (SAA) bw'ewadde Nnabagereka tikiti nnya (4) ezigenda okutwala abagunjuzi mu Kisaakaate kino e South Afrika.

Ssentebe w’Olukiiko olufuga NDF, Dr. Jeff Ssebuyiira ategeezezza nti omukago gwe bakoze ne SAA gwakuyamba ekitongole okutambuza zonna bw'atyo n'asaba ne kkampuni endala okujja okukolagana ne Nnabagereka.

Ye Yewagnesh Biriggwa, akulira SAA- Uganda agambye nti basazeewo okukolagana ne Nnabagereka olw’okwagala okutumbula ebigendererwa okuli okukuza abaana mu mpisa era baakugenda mu maaso nagwo engeri gye kiri nti Bannayuganda beeyunira ennyonyi yaabwe eno.

Ekisaakaate kino nga kye kisoose ku Lukalu lwa Africa wabweru wa Uganda kigenda kubumbujjira wansi w’omulamwa ogugamba nti “ Tusoosowaze Obuntubulamu.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...