TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Nnaabagereka atongozza Ekisaakaate e South Afrika

Nnaabagereka atongozza Ekisaakaate e South Afrika

By Dickson Kulumba

Added 3rd April 2017

NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda asomoozezza Bannayuganda ababeera e South Africa okukuuma Olulimi Oluganda luleme kusaanawo.

Tongo 703x422

Abakubirizza okufissangawo obudde buli lunaku bayigirize abaana baabwe Oluganda ate nabo okulwogeranga enkakera abaana basobole okubayigirako.

Bino yabyogedde aggulawo Ekisaakaate ekiyindira ku High Performance Centre University Of Pretoria e South Africa ku  Lwomukaaga akawungeezi.

" Abanoonyereza ku nnimi balaga nti ennimi enzaliranwa nnyingi ziri mu kaseera kazibu nga zolekedde okusaanawo bwewatabeerawo kikolebwa. Tetwagala Oluganda lubeere olumu kuzzo," Nnaabagereka bwe yategeezezza.

Ekisaakaate kini kitambulira wansi w'Omulamwa "Tusosowaze Obuntubulamu" nga kyakukomekerezebwa ku Lwokubiri April 4,2017.

Nnaabagereka yawerekeddwako eyaliko minisita w'ebyensimbi mu ggwanga, Maria Nabasirye Kiwanuka nga yayanirizibwa Abaami ba Kabaka mu ggwanga lino abaakulembeddwamu Dr. Dunstan Lumu.

Omukolo guno gwetabiddwako  Thandikile Ndlovu ng'ono ye mukyala wa Kabaka w'e Zulu.

Abamu ku baavujjiridde ekisaakaate kino be ba South African Airways nga bawaddeyo tikiti z'ennyonyi nnya okutambuza Abagunjuzi mu Kisaakaate.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...