TOP

Obukaka bwa Kabaka Obw'amazuukira

By Dickson Kulumba

Added 14th April 2017

Obukaka bwa Kabaka Obw'amazuukira

Kabaka22703422703422 703x422

Ssaabasajja Kabaka

Obukaka bwa Kabaka Obw'amazuukira

NGA tweteekerateekera okukuza amazuukira ga Yesu Kristo ag’omwaka guno, tusooka okuyozaayoza abayise obulungi mu kisiibo ekikulembedde ekyamagero kino. Weewaawo waliwo bannaffe bangi abatuvudde ku maaso oluvannyuma lw’okulwala okwa bulijjo ate abalala ne battibwa mu ngeri y’entiisa ekintu ekitwennyamizza ennyo! Ffe abakyasigaddewo twebaza Katonda olw’obulamu bw'atuwadde n’ebirungi by'atukolera. Ng'oggyeeko okufiirwa, twafuna ekyeya okyatulowoozesa nti twolekedde enjala ddekabusa, eky’omukisa tufunyeewo ku nkuba mu biseera bino era tukubiriza bannaffe abeenyigira mu by’obulimi n’obulunzi okukozesa ennimiro zaabwe balime ebirime ebyanguwa okubala n’okweyambisa amagezi agabaweebwa abakugu. Twongera okwennyamira olw’obulwadde bwa siriimu obwali butandise okukendeera naye nga kati bweyongera buli kiseera. Tukuutira abantu baffe okukola ekisoboka okwewala endwadde eno n'amutta n’okwekebeza buli omu amanye bw'ayimiridde. Nga bannaffe aba UNIADS bwe baatusaba, abaami n’abavubuka, abalenzi ku luno be bajja okukulembera olutabaalo. Tukubiriziddwa n’okwekebeza obulwadde bwa Nnalubiri oba ‘sickle cells’ nga tuteekateeka eby’obufumbo kitusobozese okuzaala abaana abalamu. Bwetunaakola ebyo waggulu tujja kuba n’eggwanga eddamu, ekinaatutuusa ku nkulaakulana eya nnamaddala nga mw'otwalidde n’okwegobako obwavu obutufuukidde ekyambika. Tubaagaliza Paasika ey’essanyu n’Emirembe. Ronald Muwenda Muwenda II

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...