TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka ataddewo enkola empya ku ttaka lye

Kabaka ataddewo enkola empya ku ttaka lye

By Dickson Kulumba

Added 20th April 2017

Ebyapa bino ebya liizi ey’emyaka 49 byakuweebwa abantu ku bibanja byabwe kwe babeera ne kwe bakolera, nga tebayise mu nkola ya kwegula.

Babiri 703x422

Katikkiro Charles Peter Mayiga (ku ddyo) ne Kiwalabye Male akulira Buganda Land Board.

MMENGO etongozza enkola y’okuwa ebyapa abantu bonna abalina ebibanja ku ttaka lya Kabaka.

Ebyapa bino ebya liizi ey’emyaka 49 byakuweebwa abantu ku bibanja byabwe kwe babeera ne kwe bakolera, nga tebayise mu nkola ya kwegula.

Abagenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno etuumiddwa “Ekyapa mu ngalo” be bantu emitwalo 13 abasangiddwa nga beewandiisa ng’abasenze abatuufu ku ttaka lya Kabaka; wabula n’abatannaba kwewandiisa baweereddwa omukisa okwewandiisa baganyulwe mu ntegeka y’okuwa abantu ebyapa ku bwereere.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yatongozza enkola eno eggulo ku Bulange - Mmengo n’ategeeza nti etandikiddewo okukola era yaakumala emyezi mukaaga ng’ebyapa bya liizi biweebwa abo abaasooka okwewandiisa.

Mayiga yagambye nti: “Ssaabasajja Kabaka yasiimye abantu bonna abeewandiisa ku ttaka lye okuweebwa ebyapa ku bibanja byabwe nga bya liizi ya myaka 49.

Kino kikoleddwa okusobozesa abantu okunyweza obusenze bwabwe n’okukomya okusengula n’okutaataaganya abasenze.”

Yalambuludde ku birungi ebikirimu n’agamba nti: Abantu baakufuna omukisa okukulaakulanya ebifo byabwe nga bakola emirimu egy’enjawulo awatali kutya kwonna n’okubanguyiza mu kusasula ensimbi ezigendera ku liizi mu nkola ey’obwerufu.

Okufuna ekyapa kino, omuntu waakusasulayo ensimbi entonotono okusobozesa obuweereeza buno okutambuzibwa obulungi nga kinaasinziira ku kitundu oli gy’abeera.

Dennis Bugaya omwogezi wa Bugand Land Board yagambye nti, alina ekibanja ku ttaka lya Kabaka e Nansana mu Wakiso kibadde kimwetaagisa ensimbi ezitakka wansi wa 3,500,000/- okwegula afune ekyapa kya liizi wabula mu nteekateeka eno, emisoso egyetaagisa gya kumumalako 800,000/- okukwasibwa ekyapa.

Akulira Buganda Land Board (BLB) David Kyewalabye Male yagambye nti okuwandiisa okw’ekikungo eri abali ku ttaka lya Kabaka kwatandika mu 2015 era abantu 130,000 abagenda okusooka okulowoozebwako mwe baava.

Yagasseeko nti n’abatannaba kwewandiisa, oluggi luggule bagende mu ofiisi za Buganda Land Board ezibaliraanye beewandiise nabo bafune ekyapa.

Okwewandiisa okw’ekikungo n’okupunta kwali kwa 600,000/- mu bibuga ate mu byalo 100,000/- kyokka oluvannyuma lw’okwewandiisa okw’ekikungo okuggwaako, Bugaya yagambye nti abatanneewandiisa baakusasula ebisale ebyali byagerekebwa edda nga mu kibuga (Busiro ne Kyaddondo) baakusasula 1,200,000/- ate mu byalo basasule 250,000/- ku buli kibanja.

Mu kwanjula enteekateeka eno, Mayiga yabadde wamu ne Minisita w’ebyettaka, obulimi n’obutonde bw’ensi e Mmengo, Ying. Martin Kasekende, Omumyuka we Hajj Hamis Kakomo n’abakozi ba BLB.

EBYETAAGISA MU NKOLA ENO:

1 Fayiro nnamba yo, singa ekibanja oba wakiwandiisa mu BLB. Fayiro eno yeeraga amannya ga nannyini, ekitundu ettaka we liri n’obunene.

2 Okubalirira kwa ssente ezeetaagisa okuva mu ttabi lya BLB era ng’osasuddeko ensimbi mu bbanka kw’ezo ezibaliriddwa mu kufuna ekyapa.

3 Lisiiti ezikakasa nti wasasula mu kuwandiisa ekibanja n’emisoso ku kyapa.

BOBI WINE N’ABASENGULWA ABALALA

Ku nsonga ezigenda mu maaso ku ttaka ly’Obwakabaka okuli okusenda abantu, Mayiga yagambye nti: Obwannannyinni ku kibanja tebukuwa bbeetu kugenda ne weegabira by’oyagala n’oyingirira n’awataakuweebwa, obeera olina okutambula n’amateeka nga bwe gakulambika.

Ekirala ettaka ly’Obwakabaka, teririna kutwalibwa ng’ekintu ekiri awo wabula libeerwako okusinziira ku mitendera.” Ku Lwomukaaga oluwedde abatuuze ku kyalo Bugabo mu ggombolola y’e Kalagala mu Luweero baava mu mbeera ne bookya tulakita ya yinvesita eyali ayerula ettaka eryamuguzibwa ekitongole ky’Obwakabaka ekya Nkuluze.

Tulakita eno yaleetebwa okusendawo ennimiro z’abantu eziri mu ttaka lino erisukka yiika 50 abantu mu kitundu kino n’esanyaawo ennyaanya ne lumonde w’abantu; kwe kutwalira amateeka mu ngalo ne bagyokya.

Mayiga yagambye nti “ Ettaka eryo lya Bwakabaka nga bwawaawo omuntu liizi nga byonna ebyagenze mu maaso bivunaanyizibwa ku muntu oyo (yinvesita) eyaweebwa obuvunaanyizibwa bw’ekifo ekyo. Yamanyi engeri gye yakuttemu ensonga ezo.

Ensonga z’ettaka ly’e Bugabo zeegasse ku byaliwo ku ttaka ly’e Kaazi - Busabaala, ekitongole ky’e Nkuluze bwe kyasenda ekitundu ku bbiici y’Omuyimbi Bobi Wine eyitibwa ‘One Love’ nga April 7, 2017 nga bagamba nti omuyimbi ono yayingira mu ttaka eritali lirye.

Ku nsonga eno Mayiga yategeezezza nti: Obwakabaka bwayisa ekiwandiiko ekitongole ekinnyonnyola ensonga ezikwata ku ttaka lino era omuntu yenna ayagala okumanya ebisingawo asobola okwongera okukyetegereza.

Bobi Wine bwe yatuukiriddwa yategezezezza nti ku lulwe ayagala wabeerewo obwenkanya n’agattako nti:

“Nkyalinze okuweebwa omukisa nsisinkane Katikkiro oba Ssaabasajja Kabaka mbabuulire engeri gye nnayisibwamu mu ngeri etaalimu bwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye