TOP

Balooya bakubye ebituli mu liizi z'e Mmengo

By Benjamin Ssebaggala

Added 20th April 2017

BANNAMATEEKA balaze obulippo abeebibanja bwe balina okwegendereza nga bayingira mu nteekateeka ya liizi Mmengo gye yataddewo ne liizi endala zonna ezigabwa.

Bala 703x422

Tulakita abatuuze b’e Bugabo mu ggombolola y’e Kalagala mu disitulikiti y’e Luweero gye baayokezza olw’okubasendera emmere yaabwe .

Looya Luyimbaazi Nalukoola owa Kkampuni ya Nalukoola, Kakeeto Advocates and Solicitors yagambye nti wadde liizi y’emu ku nkola omuntu gy’afunamu obwannannyini ku ttaka, naye erimu obukwakkulizo obuwerako, oweekibanja bw’alina okulowoozaako.

1 Emyaka egikuweereddwa bwe giggwaako, ekyapa ekyo kiba tekikyalina mugaso era n’obwannannyini bukoma awo; okuggyako ng’ogizzizza buggya ku ntegeeragana empya kubanga ‘oweekibanja’ y’alina okuweebwa omukisa ogusooka.

2 Liizi ng’eweddeko, emiwendo egigerekebwa (Premium) gibeera mirala okusinziira ku mbeera ebeera eriwo n’ebbeeyi y’ettaka mu kitundu.

3 Omuntu ayagala liizi singa alemererwa okusasula omutemwa gwe bamusalidde (Premium ne Ground rent), ekibanja ekyo kisobola okumuggyibwako nga bayise mu mateeka ne kiddira nnannyini ttaka.

4 Nnannyini ttaka asobola okukyusa emiwendo egisasulwa buli mwaka (Ground rent oba busuulu). Kyokka bwe zikulema, osasuzibwa engassi wabula byonna bwe birema liizi esobola okusazibwamu ettaka ne likuggyibwako.

5 Nnannyini ttaka mu kukuwa liizi, olaga by’otegese okukolera ku ttaka eryo era bwe mukkaanya nti ogenda kulirimirako ne wayita ekiseera n’olifuula ekifo awasimba emmotoka (paakingi) asobola okusazaamu liizi n’alikuggyako.

6 Emyaka 49 egya liizi gye baba bakuwadde bwe giggwaako, olwo nnannyini ttaka abeera wa ddembe okweddiza ettaka lye. Embeera eyo ebeera etegeeza nti olina okulivaako era ebiriko obireka okuggyako ebisengulwa ng’ebiggya.

7 Ng’otuuse okutunda ettaka lya liizi, aligula abalirira myaka egyo egisigaddeyo ku liizi; okugeza bwe bakuwa ey’emyaka 49 n’obeerako emyaka 29 n’oyagala otunde; omuwendo gw’otunda gubeera wansi kubanga aligula abeera agula emyaka 20 egisigaddeyo liizi eggweeko.

Male Mabiriizi eyatwala omusango mu kkooti ku nkwata y’ettaka lya Kabaka yagambye nti okukkiriza liizi ya Mmengo kubeera kweyimbamu muguwa kubanga obeera weetongozza ng’omupangisa ku kibanja kyo ne bw’oba wakisikira.

Mabiriizi yagambye nti endagaano ya liizi erimu obukwakkulizo bungi bwe batabuulira bantu so nga bangi tebalina ssente zaakusasula bannamateeka basobole okubataputira.

Steven Ssenkeezi owa Ssenkeezi and Ssali Company Advocates yagambye nti liizi eyamba oweekibanja okumuwa obwannannyini mu myaka egiba gimuweereddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam