TOP
  • Home
  • Buganda
  • Katikkiro awadde ensonga mukaaga ezivaako obuvuyo bw'ettaka mu ggwanga

Katikkiro awadde ensonga mukaaga ezivaako obuvuyo bw'ettaka mu ggwanga

By Dickson Kulumba

Added 22nd May 2017

Katikkiro awadde ensonga mukaaga ezivaako obuvuyo bw'ettaka mu ggwanga

Kat1 703x422

Katikkiro ng'ayogerera mu lukiiko lwa Buganda e Bulange Mmengo

OLUKIIKO lwa Buganda lusabye mmengo esseewo akakiiko akeekikugu  kekenneenye ennongoosereza Gavumenti ya wakati zeeyagala okuleeta n’okugoberera ebyo ebigenda mu maaso ku kakiiko akanoonyereza ku nsonga z’ettaka mu ggwanga.

Bino bibaddewo mu  lukiiko lwa Buganda olwa 24 olutudde mu Bulange Mmengo enkya ya leero abakiise mwe basiimidde enkola y'ekyapa mu Ngalo oluvannyuma lwa munnamateeka Christopher Bwanika okusoma alipoota esoma nti “ Ku nsonga ya Kyapa mu ngalo, akakiiko kawagira ne ssekuwagira enkola eno egendereddwaamu okunywereza abantu ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka n’okulaba nga tebagobaganyizibwa.”

Mu ngeri yeemu balabudde abo abayita ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo omu n'egya yintaneti okuvvoola Kabaka ne Gavumenti ye nti begendereze kubanga Abaganda bamalirivu okukuuma Kabaka waabwe era sibeetegefu kukkiriza muntu yenna avvoola Kabaka.

Omukiise Damas Mulagwe asabye Gavumenti ya Kabaka eddemu okuteesa n’amaanyi ne Gavumenti eyawakati ku ttaka eryaterekerwa Abaganda abalijja mu maaso (Mayiro 9000) kubanga kati Gavumanri yatandika okuligabako ebyapa eby’obwannannyinni nga kitegeeza nti essaawa yonna liyinza okuba nga liggwaawo.

 

Bw'abadde ayogerako eri abakiise, Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga, azzeemu okukiggumiza nti Obwakabaka tebugenda kukkiriza bbago erireetebwa Gavumenti okutwala ettaka ly’abantu nga tesoose kubaliyirira era n'ategeeza nti ensonga mukaaga zeezirina okwekennenyezebwa kiyambeko  okugonjoola ensonga z’ettaka mu ggwanga.

Ayongeddeko nti “ Obunafu bwa poliisi okuleeta obujulizi mu misango gy’ettaka, Kkooti okulemwa okulamula  mu budde ensonga z’ettaka ate oluusi n’okulemwa okuziramula mu ngeri ennambulukufu, obungi bw’abantu obweyongedde so ng’ate ettaka teryeyongedde, ettaka okukaddiwa ne libeera nga telikyasobola kuvaamu mmere esobola kuliisa abantu abangi mu ggwanga, obunafu mu ofiisi z’ebyettaka wonna mu ggwanga, ssaako ne bannabyabufuzi  okweyingiza mu nsonga z’ettaka nga beefula abayamba abantu…n’olwekyo ffe nga Bannayuganda bwetutasalire magezi nsonga ezo, obuvuyo ku ttaka bwakweyongera.”Bwatyo Katikkiro bwategeezezza

 

Ye Apollo Makubuya nga ye Mumyuka Ow’okusatu owa Katikkiro ategeezezza nga Minisitule ye bwekola ku nsonga z’obugulumbo obuli mu masaza okuli Bugerere, Buluuli ne Kooki okulaba nga buggwaawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...