TOP
  • Home
  • Buganda
  • CHWA NABAKKA: Kabaka eyavaako Bakabaka okweddira emiziro gya bannyaabwe

CHWA NABAKKA: Kabaka eyavaako Bakabaka okweddira emiziro gya bannyaabwe

By Dickson Kulumba

Added 2nd July 2017

Nga tujaguza amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka ag’oimulundi ogwa 24, tukuleetedde emboozi eziraga Bakabaka ba Buganda na biki bye baagatta ku Bwakabaka.

Bale 703x422

Leero   DICKSON KULUMBA  alaze Kabaka Chwa I Nabakka bye yagatta ku Buganda. 

CHWA I Nabakka ye Kabaka wa Buganda owookubiri. Ono yakola kinene okulaba ng’Obwakabaka tebubulwa Mulangira alya Nnamulondo, ekintu ekyazimba Obuganda n’okutuusa leero.

Ebikwata ku mulembe gwe si bingi kyokka aboogezi bangi bamutendereza okukuuma ebyo kitaawe Kintu bye yaleka alambise okutambulizaako Obuganda.

Sir Apollo Kaggwa eyaliko Katikkiro wa Buganda mu kitabo kye Bassekabaka ba Buganda anyumya ku mulembe gwa Nabakka bw’ati “KINTU ng’amaze okubula, Chwa Nabakka n’alya Obuganda kubanga abaami baalaba nga tewakyali  Kabaka abalamula.

Era ebyo bwe byaggwa, ne baddira omwana wa Kisolo Wamala, n’amusikira. Era okwo kwe kwava olugero nti, “ Obusigire bwatta Kisolo” . Chwa yakuba ekibuga kye e Bigo, n’azaala omwana we Kalemeera.

Awo Kalemeera bwe yakula, ne bamubuulira nti, jjajjaawo Kintu ne muganda wa kitaawo Mulanga, baabula bubuzi, tetwamanya  gye badda.” Kalemeera kye yavanga akuuma kitaawe ng’alowooza nti, “Oba oli awo ne kitange n’abula; kamukuumenga, bw’alibula nga tuli wamu naye.”

Awo Chwa yalaba ng’amukuuma nnyo n’amusalira amagezi  n’ayita Walusimbi Ssaabaddu we nti, “ Kale waayiriza omwana ono omusango alekenga okunkuuma bwatyo.”

Walusimbi kye yava amuwaayiriza nti, “Omwana ono yasuze ne mukazi wange.” Kubanga tewaali nsonga ya mazima. Yamala gamuwaayiriza, era ave ku kitaawe okumukuuma.

Awo  bwe baayita abakulu bonna, ne bakuηηaana, ne bababuulira omusango. Abaami  bonna ne basala amagezi omusango nti, “ Omwana gumusinze.” Walusimbi n’asala Olukoni (edda ebintu ebingi ennyo nga biyitibwa Lukoni).

Kitaawe n’agamba
Abaami nti, “ Kale mumulondere abantu bawerekere omwana agende eri muganda wange Winyi, Kabaka w’e Bunyoro, agende yeetange ebintu.” Abaami ne balonda: Bwoya yalonda Mulegeya. Kasujja yalonda Ssebatta. Kalogo yalonda Mpinga.

Wakayiba yalonda Mazige, era Wakayiba ye yalundanga ente za Kintu. N’abalala bangi abaalondebwanga abaami bonna; n’ebika byonna byalonda abantu abaagenda naye. Awo bwe bwakya enkya, Kalemeera n’asitula n’agenda e Bunyoro e Kibulala.

Winyi bwe yalaba omwana wa muganda we, n’amwagala nnyo. Kye yava amusuliza ddala omw’omukyala Kaddulubaale Wanyana.
Kalemeera bwe yalaba Wanyana nga mulungi, n’amwagala.

Amangu ago n’amufunyisa olubuto. Kaleemera bwe yalaba ng’azzizza omusango ku Wanyana, n’abuulirako Mulegeya nti, “Nzizizza Omusango ku Mukyala Wanyana.”

Mulegeya n’asala amagezi n’agamba nti ,” Kangende eri Kabaka; bw’anjagala, kantwaleyo ebigambo by’enfumo.” Bwe yajja eri Kabaka Winyi n’amugamba nti, “ Nalaguddwa nti, bw’owuliranga omumwe nga mulimu omukyala azzizza omusango, tamulabangako, bamuzimbiranga bweru, era tamukolanga bubi.

Era bw’azaalanga omwana bamumuggyangako ne bamussa mu kirombe. Bwe balikola
bwe batyo, oliba mulamu era oliwangaala.” Winyi bwatyo n’akkiriza ebigambo bya Mulegeya.

Era Mulegeya ng’abumba entamu. Mulegeya bwe yaddayo ewuwe, n’abuulira Kalemeera nga bwe yagamba Kabaka.

Amangu ago, Kalemeera n’ateesa ne Mulegeya nti, “ Nze kaηηende eri Kabaka, mmulage nti nzirayo ewaffe e Buganda.” Naagenda n’alaga.

Kabaka Winyi n’amugamba nti, “ Kale ddayo ewammwe.” Kalemeera n’asitula okukomawo e Buganda. Mulegeya n’asigalayo e Bunyoro era n’abalala.

Bano be basajja ba Kitaawe be yali nabo; Lwabiriza, Kigu ne Kalogo. Kalemeera mu kkubo yali yaakamalamu
ennaku bbiri, n’alwala n’afa.

Be yali nabo ne bamutemako omutwe ne bagusiba mu ddiba ly’empisi. Ne baleeta omulambo gwe, ne baguziika e Kyasa mu Busiro. Bwe baatusa omutwe gwa Kalemeera eri bannaabwe, baasanga nga ne Chwa abuze bubuzi.

Eno y’ensonga eyamubuza: Yali agenda e Magonga okulaba oba kitaawe yabulira ddala. Naye  bwe yatuuka mu kkubo, ne wabaawo omuntu amulimba nti, Kitaawo yakomawo.” Kabaka Chwa I ensonyi bwe zaamukwata ng’atidde kitaawe, n’abulira mu lusenyi Ddavula.

Kye baava bagera olugero nti, “Amasuubisuubi gali e Ddavula.” Kuba abaali e Bigo baalowooza nti Kabaka yagenda Magonga, n’ab’e Magonga baalowoozanga nti ali wuwe e Bigo.

Oluvannyuma ne bategeera nti yabula bubuzi. Naye ne batamanya nga kisolo kye kyamulya.

Okukulembera Obuganda obulungi, yalonda  Bakatikkiro okwali Walusimbi Oweffumbe ne Ssebwana Owoolugave okumulamulirako ensi ye kyokka bwe yabula, Ssebwana n’asigala ng’akuuma Nnamulondo.

Daudi Malagala, Katikkiro w’ekika ky’Embwa agamba nti Kabaka Kato Kintu yazaala abaana bangi okwaali Gguluddene nga ye mutabani  we omukulu, Wakayima ne Chwa Nabakka.

Kyokka Gguluddene ne Wakayima yabazaala mu mukazi mulala atali Nambi. “ Chwa Nabakka we yalinnyira ku Nnamulondo, Abalangira bonna baali beddira Mbwa.

Lumu Chwa yali anyumya ne mukulu we Gguluddene, embwa n’ejja erya empitambi mu maaso gaabwe nga bombi balaba.

Chwa Nabakka yagamba Muganda we nti, “ Olabye embwa bw’eridde empitambi?” Wano Chwa we yalayirira nga bw’atayinza kuddamu kweddira mbwa.

Chwa yasalawo kweddira muziro gwa nnyina. Gguluddene yakiwakanya nnyo era wano Chwa we yagambira Muganda we nti, ‘ Wabula oli Mutasingwampaka’.

Okuva olwo Gguluddene erinnya lya Mutasingwa ne limukalirako ddala. Era okuva olwo Kabaka yasigala yeddira muziro gwa nnyina.

BYE YATEEKA KU BUGANDA

Kabaka Chwa I yakuuma ebyo Kintu bye yali alambise naddala ebika gye birina okutambuzibwa n’okutuusa kati nga bituukiriza obuvunaanyizibwa bwabyo mu Lubiri.


Yaleeta ennono ya Kabaka okweddira omuziro gwa nnyina. Yeddira muziro gwa nnyina Nakiwala Kabejja Oweηηonge.

Dr. Adam Kimala ayogera ku nnono ya Kabaka okweddira ekika kya nnyina nti kyagendererwamu okulaba nga tewabeera kika kyefuga Bwakabaka.

Ayongerako nti, “ Kino kyakolebwa mu ssaayansi wa waggulu naye ng’amazima gali nti Bakabaka baffe basigala nga Balangira wabula nga bawa nnyo ekitiibwa oludda lwa Bannyaabwe.

Ky’ova olaba mu bakojja ba Kabaka eri amaanyi mangi agabaweebwa okuli kkojjawe omukulu Ssaabaganzi. Ekikulu ekyakolebwa ku mulembe gwa Chwa I Nabakka kwe kulaba nti Kabaka asigala ng’ava mu lulyo naffe abakopi tusigale mu bika byaffe era kino kye kyatebenkeza Obuganda.”

Omulembe gwe gwaleetera abakopi okufuga ku Buganda okumala akaseera kuba Ssebwana ow’e Gganda nga yakuuma Nnamulondo okumala emyaka egisoba mu 10.

Ebika bingi byaggwa amaanyi gaabyo ku mulembe gwe okuyingira ogwa Kimera era okuva olwo bwe buvunanyizibwa bwebitambuza. Bino kuliko enkima, embogo n’ebirala.

Mugadya Sserubidde, Katikkiro w’ekika ky’Enkima agamba nti olw’embeera Nabakka gye yaleeta mu Bwakabaka, ye yavaako Abenkima okufuna obukulu nga ‘Bajjajja ba Buganda’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...