TOP
  • Home
  • Buganda
  • Pulogulaamu y'amatikkira ga Kabaka efulumye

Pulogulaamu y'amatikkira ga Kabaka efulumye

By Dickson Kulumba

Added 18th July 2017

PULOGULAMU y'emikolo gy'amatikkira ga Kabaka efulumye, abantu ne bakubirizibwa okwenyigira mu bikujjuko byonna ebitegekeddwa okusobola okuweesa Obwakabaka ekitiibwa.

One 703x422

Omumyuka wa Sipiika wa Buganda, Hajj Ahmed Lwasa (Ow'okusatu okuva ku ddyo) era nga ye Ssentebe w'olukiiko olutegeka amatikkira ga Kabaka ag'omulundi ogwa 24 ng'ali mu kifaananyi n'abategesi abalala. Okuva ku ddyo ye Mariam Mayanja (avunaanyizibwa ku ntambula za Kabaka), Minisita Richard Mulema Mukasa. Ate okuva ku kkono ye Ronald Kawaddwa (owa Majesctic Brands), Omutaka Kayiira Gajuule ne Remmy Kisakye owa Airtel- abamu ku batadde ensimbi mu mikolo gy'amatikkira ga Kabaka. Babadde Bulange- Mmengo leero nga July 18, 2017 oluvannyuma lw'okwogera eri bannamawulire.

Amatikkira g'omwaka guno gagenda kukuzibwa mu ssaza ly'e Buweekula wansi w'omulamwa ogugamba nti "Okukuuma n'okukozesa ettaka obulungi okukulaakulanya Buganda," era nga gwakubeera e Kaweeri.
 
Ssentebe w'olukiiko olutegeka ebijaguzo bino, Hajj Ahmed Lwasa ategeezezza nti ebikujjuko bitandika ku lwa July 23, 2017 n'omuzannyo gwa Rugby ogunaazanyibwa ku Namiryango College.
 
Hajj Lwasa nga mu kiseera kye kimu ye mumyuka wa sipiika wa Buganda ayongeddeko nti wajja kubaawo n'okusaala okw'okwebaza Katonda mu mizikiti gyonna okwetooloola Buganda ku Lwokutaano nga July 28, 2017.
 
Ate ku Lwomukaaga nga 29, July, 2017 kwe kusaba mu Baseveniside ate ku Ssande nga 30 , July, 2017 Kusaba mu kanisa endala."
 
July 29, 2017 wategekeddwawo obugaali e Buweekula, Olusiisira lw'ebyobulamu e Kiyuni lwakukomekkerezebwa nga July 30, 2017.
 
Ku lunaku lwe lumu kuliko olusiisira lw'ebyamateeka olunaayindira ku Mayor's Gardens - Mubende, abantu mwe banaasomesebwa ku ttaka n'ensonga endala.
 
July 30, 2017 wagenda kubaawo omupiira wakati wa Buweekula ne Ssingo u kisaawe e Buweekula ate akawungeezi wategekeddwawo Ekyoto Ku ttabi Muteesa I Royal University Mubende.
 
"Ku lwa July 31, 2017 lwe lunaku lw'amatikkira nga tusaba abantu bakeere bakkalire ku ssaawa 3:00, ate ku 3:30 abagenyi bonna abayite lwe bagenda okutuuka," Hajji Ahmed Lwasa bw'ategeezezza.
 
Lwasa ayongeddeko nti wabeerawo emikolo  egy'enjawulo eginaasanyusa abantu bonna mu biti ebyenjawulo.
 
Ye Minisita avunaanyizibwa Ku ntambula za Kabaka, Mariam Mayanja asabye abantu ba Kabaka okusanyuka nga balekamu baleme kugwa wansi mu kkubo saako okuzimba ebiyitirirwa ebinaaweesa Buweekula ne Buganda ekitiibwa.
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....