TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mabiriizi ayagala Kabaka amuliyirire obuwumbi 10

Mabiriizi ayagala Kabaka amuliyirire obuwumbi 10

By Benjamin Ssebaggala

Added 23rd July 2017

MALE Mabiriizi ataddeyo okusaba mu kkooti ng’ayagala Kabaka Ronald Mutebi amuliyirire obuwumbi 10 mu musango gwe yamuwawaabira ng’ayagala kkooti eyimirize Buganda Land Board (BLB) okusolooza ssente ku bantu abali ku ttaka.

Li4650462 703x422

Male Mabiriizi

Omusango guno oguli mu maaso g’Omulamuzi Patricia Basaza Waswa, Mabiriizi yasabye kkooti eragire BLB eweeyo ebiwandiiko by’ayagala okusinziirako ng’ajulira okuli akawunti za bbanka n’ebyapa by’ettaka era kkooti yawadde ekiragiro gye buvuddeko Kabaka abiweeyo.

Kabaka ng’ayita mu bannamateeka ba Kalenge, Bwanika, Ssawa & Co. Advocates yajulidde ku nsonga eno ng’ayagala kkooti ejulirwamu esazeemu ekiragiro ky’okuwaayo ebiwandiiko bino.

Wiiki ewedde, Omulamuzi Basaza yakkirizza okujulira kwa Kabaka n’ayimiriza ekiragiro ky’okuwaayo ebyapa n’alagira Kabaka aliyirire Mabiriizi ssente z’asasaanyizza ku nsonga eno.

Mabiriizi yataddeyo empapula mu kkooti ng’ayala bamuliyirire 10,966,086,094/-.

Omuwendo gwe yasabye si gwankomeredde, Kkooti Enkulu yawadde olwa August 31, 2017 okuwulira okusaba kuno.

Bannamateeka ba Kabaka be bagenda okunnyonnyolera kkooti omuwendo gwe baagala asasule era bagukkaanyeeko.

Ekiwandiiko kkooti kye yawadde eragira enjuyi zombi okubaawo ku lunaku olwo nga ssinga Kabaka takiikirirwa, kkooti yaakugenda mu maaso ewulire ensonga esalewo omuwendo gw’alina okusasula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.