TOP

Kabaka agabidde abayizi 450 basale

By Dickson Kulumba

Added 7th August 2017

Minisita w’ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Twaha Kaawaase alabudde abazadde ku bafere abayinza okubabuzaabuza nti bagenda kubafunira basale e Mmengo ne babalyako ensimbi.

Bbaluwabasale4 703x422

Minisita w'ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Twaha Kaawaase ng'akwasa omuyizi Dan Mugwanya ebbaluwa ye eya basale ng'agenda kusoma bya kompyuta ku Muteesa I Royal University. Ku kkono ye Rtd Capt. Ssalongo Luwagga kitaawe wa Mugwanya.

Kaawaase ategeezezza nti basaanye okwetuukira mu ofiisi y’ebyenjigiriza e Mmengo okulambikibwa obulungi era neyebaza amatendekero agawa Obwakabaka bwa Buganda basale.

Bino abyogedde nkya ya leero ku mukolo kw'akwasiriza abayizi abasoba 450 ebbaluwa za basale okusoma mu mattendekero ag’enjawulo mu ggwanga ng’omukolo gubadde Bulange- Mmengo enkya ya leero naakubiriza abazadde okwagazisa abaana baabwe amasomo g’ebyemikono.

inisita webyenjigiriza e mengo r waha aawaase yakwasizza abayizi abawereddwa basale okusoma mu mattendekero agenjawulo mu ggwanga ebbaluwa zaabweMinisita w'ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Twaha Kaawaase yakwasizza abayizi abawereddwa basale okusoma mu mattendekero ag'enjawulo mu ggwanga, ebbaluwa zaabwe.

“ Okufuna basale zino tekuli bukwakkulizo kyokka ky'olina okulaga bwe bwetaavu. Ekirala oli alina kujja mu ofiisi z’ebyenjigiriza wabula si kukoma ku ggeeti za Bulange-Mmengo- eyo gye muyinza okufunira ababafera nti bagaba basale nga bakozesa obutafaayo bwamwe,” Dr. Kaawaase bw'ategeezezza.

Abayizi bano obuyambi obubaweereddwa buli mu nteekateeka eya Kabaka Education Fund ng’abamu bazze ne bazadde baabwe era Rtd Captain Luwagga, omu ku bazadde ababaddewo agambye nti Obwakabaka okusalawo okusomesa abantu baabwo kikulu nnyo era abayizi bwe bakuba emisomo oluku mu mutwe nabo bajje baweereze Obwakabaka mu ngeri emu oba endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo