TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka asiimye okuggulawo olukiiko lwa Buganda ku Mmande

Kabaka asiimye okuggulawo olukiiko lwa Buganda ku Mmande

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

KABAKA asiimye okuggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 25 ku Mmande nga August 14, 2017.

Kabaka703422 703x422

Kabaka

Ku mukolo guno, asuubirwa okugaba ekitiibwa ky’amafumu n’engabo eri abakoleredde Obwakabaka bukya buddizibwawo.

Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya bwe yabadde ayogera eri bannamawulire ku Lwokuna, yakunze Obuganda okweyiwa e Bulange - Mmengo okubugiriza Omutanda.

Yagasseeko nti, ku lunaku lwe lumu, waliwo abaami ba Kabaka mu masaza ageebweru wa Uganda abagenda okweyanza obwami mu maaso ga Kabaka.

Bano kuliko; Ying. Nelson Mugenyi Ssentumbwe (Stockholm- Sweden), Samuel Kiggwe (Atlanta- Georgia USA), Margaret Muwonge (Washington DC- USA) n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cab1 220x290

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa...

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa nga 17 omwezi ogujja

Tr2 220x290

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka...

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka yo

Say1 220x290

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu...

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu

Jab2 220x290

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya...

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya

Lip1 220x290

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye...

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye