TOP

Kabaka agenda kulabikako eri Obuganda leero

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2017

KABAKA leero asuubirwa okuggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi 25 mu Bulange e Mmengo.

Kabaka22703422 703x422

Ku mukolo guno Ssaabasajja agenda kugabira abantu ab’enjawulo abakoleredde Obwakabaka bukya buddawo ekitiibwa ky’amafumu n’engabo.

Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya bwe yabadde ayogera eri bannamawulire ku Lwokuna oluwedde yategeezezza nti kino kifuula omukolo guno ogw’ekitiibwa bwatyo n’akunga Obuganda okweyiwa mu bungi e Bulange- Mmengo leero okubugiriza Omutanda.

Kawalya yayongedde nategeeza nti “ Ku lunaku luno lwenyinni tulina abaami ba Kabaka mu masaza g’ebweru w’eggwanga abagenda okweyanza Obwami mu maaso ga Kabaka nga bw’eri ennono yaffe nga kino kikolebwa mu Lukiiko ng’abantu bonna balaba.”

Mu bagenda okweyanza Obwami kuliko; Ying. Nelson Mugenyi Ssentumbwe, Omubaka wa Kabaka e Stockholm- Sweden, Samuel Kiggwe, Omubaka w’e Atlanta- Georgia USA, Margaret Muwonge,Washington DC- USA (Amerika). Abalala kuliko abamyuka b’ababaka Deuscedit C.

Kiyimba (Derver, Colorado- USA) ne Gerald Katongole (Atlanta, Georgia). Mu nnono ya Buganda, buli oluvannyuma lw’okujaguza Amatikkira ga Kabaka, asiima n’aggulawo Olukiiko lwa Buganda era Minisita w’Olukiiko ne Kabineti, Christine Nagawa Mugerwa Kasule yategeezezza nti abakungu bangi abayitiddwa, abataka ssaako n’abakulira ebitongole by’Obwakabaka okubeera ku mukolo guno.

Mu lukiiko lw’omwaka oguwedde olwa 24, Omutanda yennyamira olw’ekisaddaakabaana mu Buganda.

Yasaba gavumenti ekangavvulire ddala abo abasingisiddwa emisango gy’okusaddaaka abaana.

Yayongera n’akubiriza abazadde okukuuma abaana baabwe ng’emu ku ngeri z’okutangiramu okubasaddaaka.

Yasiima n’emirimu Katikkiro Charles Peter Mayiga ne kabineti ye bye bakoledde Obuganda.

Ezimu ku nsonga z’asuubira okwogerako mu lukiiko lwa leero y’ensonga y’ennoongoosereza mu tteeka ly’ettaka gavumenti ly’ereeta ng’esobola okuggya omuntu ku ttaka n’emusasula oluvannyuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...