TOP

Omulangira Ssemakookiro abatiziddwa

By Dickson Kulumba

Added 21st August 2017

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II atutte Omulangira Richard Ssemakookiro mu Lutikko e Namirembe n’abatizibwa era ekkanisa n’ekola omukolo gw’okussaako Omumbejja Katrina Sarah Ssangalyambogo emikono.

Batiza 703x422

Kabaka, Nnabagereka ne Ssemakokiro ku mukolo gw’Ekisaakate gye buvuddeko.

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga.

Kabaka ng’ali ne Nnabagereka Sylivia Nagginda baatuuse e Namirembe ku ssaawa mwenda n’eddakiika 45 ne baanirizibwa Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira.

Omukolo gwakoleddwa mu kkanisa entono eri ku Lutikko eyitibwa ‘Hannington Chapel’ nga Bp. Luwalira yabadde ayambibwako Can. Benon Kityo ssaako Viika wa Lutikko eno Festo Kalungi.

We zaaweredde essaawa 11 n’eddakiika 45 olweggulo, omukolo gwabadde gumaliriziddwa.

Ng’oggyeeko Ssemakookiro, Abalongo Jasmine Babirye ne Jade Nakato abatera okuba ne Ssemakokiro ssaako mukwano gwa Ssangalyambogo Susan Bwami Kaweesa nabo babatiziddwa.

Mu ngeri y’emu Bwami Kaweesa, naye yassiddwaako emikono.

Ssemakookiro yazaalibwa July 2011 mu ddwaaliro e Nsambya amawulire agaasanyusa Obuganda.

Yalagibwa mu butongole eri Obuganda nga August,10, 2015 ku mukolo gwa Bulungibwansi ogwali ku mbuga y’essaza ly’e Busiro e Sentema.

Omulangira Chrispin Jjunju Kiweewa ne Nnaalinya Lubuga Dr. Christine Nabaloga be beeyimiridde Ssemakookiro ng’atandika olugendo lwe, olw’Omukrisitaayo omujjuvu. Omukolo guno gwabadde gwa kyama.

Okubatiza kuno kwetabiddwaako Namasole Margaret Siwoza, Omulangira David Namugala, Omulangira David Kintu Wasajja, bakadde ba Nnabagereka, Abambejja abenjawulo, Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya era nga ye Mukubiriza w’Abakrisitaayo e Namirembe, Muky. Joyce Mpanga, Omuzaana Nankya n’abalala bangi.

Kabaka ne Nnabagereka oluvannyuma baayolekedde Olubiri e Kireka awaategekeddwa embaga okwagabuliddwa abagenyi abayite.

Jjunju ye yatuusizza obubaka bwa Kabaka obw’okusiima abagenyi be okujja mu bungi okwetaba ku mukolo guno nga Kazanyirizi Kenneth Kimuli amanyiddwa nga Pablo ye yabadde kalabaalaba w’embaga eno eyakoleddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga