Bino biri mu bubaka bwe obwa Iddi eri Abasiramu ba Uganda obwafulumiziddwa olunaku lw'eggulo bwatyo ne yeebaza bonna abatuukirizza ekiragiro ky'okusiiba n'okusala ebisolo era n'asaba Katonda ateere obwangu mw'abo abakyali e Saudi Arabia okumaliriza emikolo obulungi n'okudda ku butaka emirembe.
" Nga tufundikira empagi enkulu ennyo mu ddiini y'Ekiyisiraamu Iddi Adhuha ey'okusala ebisolo, tukulisa bannaffe ab'enzikkiriza eno okuyita obulungi mu mwezi guno omutukuvu,"Kabaka bwe yagambye mu bubaka bwe.