TOP
  • Home
  • Buganda
  • Namasole ayanukudde Buganda ku ttaka lye bakaayanira ne Kibuule

Namasole ayanukudde Buganda ku ttaka lye bakaayanira ne Kibuule

By Henry Nsubuga

Added 21st October 2017

Namasole Sarah Natoolo ayanukudde munnamateeka w’ekitongole kya Buganda Land Board (BLB), Denis Buyaga nti ettaka minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule kwe yafuna ekyapa lya Bwannamasole era be balivunaanyizibwako ku lw’Obwakabaka bwa Buganda.

Pamba1 703x422

Minisita Kibuule. Ku ddyo ye Namasole Sarah Natoolo

Natoolo 96, yategeezezza bannamawulire mu lubiri lwe e Lukuli - Lusaka mu Munisipaali y’e Makindye nti lino ettaka lirye lya bwannannyini era lyamuweebwa Evelyne Kulabako, maama wa Ssekabaka Daudi Chwa.

“Ettaka lino lisangibwa Koko- Kigaya mu ggombolola y’e Najja mu disitulikiti y’e Buikwe nga liwezaako mayiro ezisukka mu ssatu nga baalimpa mu 1938 nga sinnafuuka Namasole.

N’olwekyo ettaka eryo lyange ng’omuntu so ssi nga Namasole,” Natoolo bwe yannyonnyodde.

Wabula yeesammudde ebigambibwa nti ye yaguza Minisita Kibuule yiika 85, zaagobako abantu.

Yategeezezza nti lyatundibwa Musa Kateregga, gwe yali alitaddeko okulikuuma oluvannyuma lw’okukozesa olukujjukujju n’alifunako ekyapa okuva mu ofiisi y’eby’ettaka e Mukono.

Buyaga ng’ali mu lukiiko lw’abamawulire wiiki ewedde yategeezza ng’ekyapa Kibuule ky’alina ku ttaka ly’e Kigaya bwe kiri ekifu ng’ettaka lino lya Bwannalinnya era aba BLB be balivunaanyizibwako nga tebamumanyi era tebamuwangako kyapa.

Samuel Muyanja, avunaanyizibwa ku nzirukanya y’ebintu bya Namasole Natoolo e Kyaggwe yagambye nti Kateregga oluvannyuma lw’okukuuma ettaka lino ebbanga eddene, yakozesa olukujukujju n’alifunako ekyapa.

“Bwe twategeera nti Kateregga afunye ekyapa mu bukyamu twasalawo okumutwala mu kkooti ng’ensonga zaali tezinnaggwa ne batandika okusenda. Bwe twababuuza eyali abasindise ne bagamba nti Kibuule ng’ono ye yagula ku Kateregga.

Muyanja yagambye nti baatuuza olukiiko ku ttaka ne Minisita Kibuule mwe yali n’abalaga empapula zonna ze yagulirako nga n’ekyapa yakikyusa dda okuva mu mannya ga Kateregga n’akizza mu gage.

Yagambye nti tebakkaanya kwe kuddayo ne beebuuza ku munnamateeka waabwe n’abategeeza nga Kibuule bw’atalina musango gye bali kuba eyamuguza ekyapa kyali mu mannya ge.

“Yatugamba nti Kibuule mu mateeka aba ayitibwa “Bonafide purchaser by value” ng’era yatuwa amagezi okuvunaana Kateregga eyamuguza ng’era emisango gigenda mu maaso,” bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti bwe baategeera ebyo abasenze abali ku ttaka Kibuule ly’alinako ekyapa ne babategeeza bakolagane naye kuba baali tebakyayinza kubamalira nsonga zaabwe.

Natolo yagambye nti Obwannamasole, bulina ettaka mayiro 20 ku kyalo Busagazi mu disitulikiti y’e Buikwe (Kyaggwe bbuloka 377 poloti 6) nga lino si lye lyogerwako.

Yagambye nti ettaka lino Namasole takkirizibwa kulitunda okuggyako okulifunako obusuulu okuva mu basenze ababa baliriko obumuyamba okwebezaawo n’abantu be kuba talina mpeera gy’afuna nga Nnamasole.

Ate Muyanja yalaze ebbaluwa gye yagambye nti yawandiikibwa minisita w’eby’obuwangwa n’ennono e Mengo Yusuf Ggaganga ku bw’Obwakabaka bwa Buganda ng’eragira ab’ekitongole ky’ettaka e Mukono okukolera Kateregga ekyapa kya yiika 400 ku ttaka ly’e Busagazi nti Namasole Natolo ye yazimuwa ekitali kituufu.

Ebbaluwa eno eyawandiikibwa nga May 22, 2016 eri omuwandiisi w’ebyapa ku disitulikiti y’e Mukono ng’amugamba nti yali afunye endagaano eyali ekoleddwa Namasole Natolo ng’awa Kateregga yiika 400 ku ttaka ly’e Busagazi.

Yamuwa olukusa olumuwa ekyapa nti yali talina kwemulugunya kwonna ku ndagaano eyali emuweereddwa Kateregga.

Minisita Kibuule mu lukiiko lw’amawulire lwe yatuuza wiiki ewedde yategeeza nga bwe yakebera ebikwata ku ttaka lino mu ofiisi y’ettaka e Mukono n’asanga nga waliyo ekyapa ekyali mu mannya ga Musa Kateregga.

Kibuule yategeeza nti ye teyali mukyamu okugula ettaka lino kuba amakubo gonna agayitibwamu okugula ettaka yagakozesa.

Ku ttaka ly’e limu, nga October 8, Dickson Wasswa yafa olw’emirerembe egiryekusaako ng’abatuuze baategeeza nti ono okufa kwe kwava ku kutulugunyizibwa abaserikale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kani4 220x290

Kanye West ne Kim Kardashian baawaanye...

Omumerika Kanye West ne mukyala we Kim Kardashian bacamudde pulezident Museveni.baawaanyi Uganda baagiyise ggulu...

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde