TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mmengo etongozza enteekateeka y'okutumbula ekirime kya muwogo

Mmengo etongozza enteekateeka y'okutumbula ekirime kya muwogo

By Dickson Kulumba

Added 6th November 2017

OBWAKABAKA bwa Buganda butongoza olukiiko olugenda okutumbula ennima y’ekirime kya muwogo abantu bafunemu ssente nga bwe bakuuma obutonde bwensi.

Muwogo4 703x422

Patrick Luganda akulira EBAFOSA ng'asomesa abeetabye mu musomo ku mawogo. EKIFl: DICKSON KULUMBA

Olukiiko luno lulimu emitendera ebiri ng’olumu lwa kikugu era oluteeka amateeka nga ssentebe ye Ying. Martin Sseremba Kasekende (Minisita w’ebyobulimi e Mmengo), omumyuka Hajj Hamis Kakomo Mukasa (Minisita omubeezi ow’ebyobulimi e Mmengo), Baminisita abalala okuli Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja ne Henry Ssekabembe Kiberu, Fredrick William Kiwazi- Ssentebe w'akakiiko k'ebyobutonde bwensi mu Buganda, Hajj Badru Sserwadda (BUCADEF), Ruth Musoke- Private Sector Uganda, Zakaria Mukasa, Samuel Kazibwe- ICT ne Carol Kizibaziba.

Olukiiko olutuukiriza ebyasaliddwaawo lugenda kukulemberwa abaami b’amasaza nga ssentebe ye David Ssekyeru Kayima, omumyuka Felix Nsamba Kabajjo Muteesa, Charles Kiberu Kisiriiza Ssebwana, Patrick Luwagga Mugumbule ye owaamawulire era omwogezi w'akakiiko, Hajj Twaha Lwanyaga Kibalizi ye muwandiisi.

Lwatongozeddwa sipiika wa Buganda, Nelson Kawalya n’ategeeza nti Obwakabaka bwatandika dda enteekateeka z’okufuula muwogo ekirime ekyettunzi nga bakolagana ne Uganda Breweries okusoggola omwenge NGULE-asoggolwa mu muwogo era kino kyekyawaliriza bannamikago okuli; EBAFOSA (Ecosystem-Based Adaptation for Food Security Assembly) ne UN Environment Programme for Africa okuvaayo okwegatta n’Obwakabaka okutumbula obulimi bwa muwogo.

Ku mukolo ogwabadde e Bulange- Mmengo, akulira EBAFOSA- Patrick Luganda yategezezza ng’ekibiina kyabwe bwe kisanyusa okukolagana n’Obwakabaka bwa Buganda okutumbula ekireme kya muwogo okuyamba abantu okufuna ssente, n’okugoba enjala, n'agamba nti bataddewo n’enteekateeka ezinaalambika omutindo muwogo ono kw'alina okubeera.

Ye Hajj Kakomo yategeezezza nti ng’oggyeeko muwogo, baakussa essira ku kutumbula emmwaanyi, amatooke ne lumonde kuba byonna birina akatale ate bisobola okukolebwamu ebirala bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi

Kat3 220x290

Katikkiro Mayiga akunze abantu...

Katikkiro Mayiga akunze abantu okujjumbira omulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'e Nkozi

Rep1 220x290

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo...

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti

Kat1 220x290

Gavumenti egenda kusengula abantu...

Gavumenti egenda kusengula abantu 6000 okuva e Bududa

Pob1 220x290

Gav't ekakasizza emisolo ku takisi...

Gav't ekakasizza emisolo ku takisi ne bbaasi