TOP
  • Home
  • Buganda
  • Olukiiko lwa Buganda lusiimye munnamateeka Joseph Balikuddembe

Olukiiko lwa Buganda lusiimye munnamateeka Joseph Balikuddembe

By Dickson Kulumba

Added 4th December 2017

OLUKIIKO lwa Buganda olukulu lukungubagidde n’okusiima emirimu omugenzi Joseph Balikuddembe Mukasa gyakoledde Obwakabaka naddala okulwanirira obwenkanya n’obufuzi obw’amateeka mu ggwanga.

Lukiikobalikuddembe3 703x422

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku Fr. Christopher Walusimbi Omwami w'essaza ly'e Ssese. Ku kkkono ye Mubaka wa Kabaka e Boston, Kato Kajubi ate addiridde Fr. Walusimbi ku ddyo ye Hajj Twaha Lwanyaga omwami w'essaza ly'e Butambala.

Bino bibadde mu lutuula lwalwo olw’okusatu nga olutudde e Bulange - Mmengo era ekiteeso kino kiwagiddwa ne kiyisibwa b'abadde akiika nabo mu lukiiko luno awatali kwesalamu oluvannyuma lw’okusooka okwogera ku mirimu gy'akoledde Buganda.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde omukulembeze atakyukakyuka okuva kw'ebyo by'akkiririzaamu wadde nga waliwo abamuwakanya bangi naye ng'asigala ayimiridde ku ndowooza ye.

Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko luno, Hajj Ahmed Lwasa awadde abakiise okwogera ku mugenzi ebintu eby’enjawulo era Ffefeka Sserubogo, Isaac Mpanga, Edward Kamya Lugonvu saako Mulindwa Nnakumusana ne bamutendereza ng’omuntu abadde akozeseza obuyivu bwe mu mateeka okulwanirira Obwakabaka nga kino kyeyoleka lwatu mu musango gw’e Bugerere gwe yawangula mu 2015.

Olukiiko lwe lumu lwebazizza Kabaka olw’okulung'amya Obuganda ku nsonga za Federo era luyisizza ekiteeso ekisaba akakiiko akaateekebwawo Obwakabaka ku Federo okukwatagana n’ababaka ba Palamenti abava mu Buganda okugiteeka mu Ssemateeka w’eggwanga ali mu kukolebwamu ennongoosereza.

Mayiga akubiriza Bannayuganda okweyigiriza empisa y’okukkirizanga okuwangula n’okuwangulwa mu by’obufuzi bye babeera beetabyemu oluvannyuma lw’okuwulira okuneneng'ana okungi buli ebibiina by’obufuzi mu ggwanga lwe bimala okulonda mu nda mu byo.

Mu lukiiko luno ensonga za yunivasite y’Obwakabaka eyitibwa Muteesa I Royal zanjuliddwa abakiise era Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma n'agamba nti yagguddwawo mu butongole era ekisoboka kyonna kikolebwa okulaba ng’okusomoozebwa kwe yayitamu kukolebwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo