TOP
  • Home
  • Buganda
  • Katikkiro ayagala Gav't efulumye lipooti ku ttemu eryakolebwa ku mubugirizi wa Kabaka

Katikkiro ayagala Gav't efulumye lipooti ku ttemu eryakolebwa ku mubugirizi wa Kabaka

By Dickson Kulumba

Added 11th February 2018

MMENGO esabye gavumenti eyongere amaanyi mu kunoonyereza ku bakola ettemu ku bantu ensangi zino ekintu ekikuumidde eggwanga mu kutya era nga kyolekedde okuzingamya enkulakulana.

Lumbemaliba1 703x422

Minisita w'Amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba ng'abuuza ku Musika wa Maliba Mugerwa (mu katono) nga ye Joseph Lukwago. Olumbe lw'omugenzi lwabaddewo nga February 10,2108 ku kyalo Lunene mu ggombolola y'e Mpenja- Gomba. Ku kkono bebakulembeze e Gomba.

MMENGO esabye gavumenti eyongere amaanyi mu kunoonyereza ku bakola ettemu ku bantu ensangi zino ekintu ekikuumidde eggwanga mu kutya era nga kyolekedde okuzing'amya enkulaakulana.

Bino byabadde mu bubaka Katikkiro Charles Peter  Mayiga bwe yatisse minisita w’ebyamawulire era omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba mu kwabya olumbe lw’omugenzi Godfrey ‘Hassan’ Mugerwa Maliba ku kyalo Lunene mu Muluka gw’e Nkoma e Mpenja- Gomba ku Lwomukaaga February 10, 2018 n'agamba  nti Bannayuganda batambulira mu kutya nga tebamanyi bye bakola.

“Tusaba gavumenti ensonga y’okutta abantu mu ngeri y’ekyeyonoonere ekitwale ng’ekikulu, ekole okunoonyereza okw’ekikugu kituyambe okuzuula abali emabega w’ekittabantu. Okugeza e Lwengo abantu baabalaalikanga misana ttuku ate ne bajja ne mu bitundu ebirala bwe batyo. Kati omwaka guweze bukya munnaffe ono Maliba attibwa naye poliisi tevangayo na kyonna kye yazuula ku kufa kwe era tukyagitunuulidde nkaliriza eveeyo n’ebitutuusa ku ani yamutta,” Kiyimba bwe yatuusizza obubaka bwa Katikkiro.

Mu lumbe luno, Kiyimba mwe yategeerezza abakungubazi nga Kabaka bwe yasiimye okuweerera abaana ba Maliba okuli; Joseph Lukwago (eyamusikidde) ne Sharuwa Namuli okutuusa lwe balifuna ddiguli era abantu ne bakubirizibwa okunyiikira okusomesa abaana nga beeyambisa bbasale Obwakabaka ze bwateekawo.

Maliba eyali omutandisi w’ekibiina ky’abavuzi ba pikipiki eziwerekera Kabaka ekiyitibwa Kabaka Mwenyango yasangibwa ng’attiddwa nga February 4, 2017 ng’omubiri gwe gugudde okuliraana essundiro ly'amafuta erya Kobil ku luguudo lwa Bombo nga tonnatuuka ku bitaala by’e Wandegeya.

Ku lw’ekibiina kya Kabaka Mwenyango, ssentebe omuggya, Ismail Mboggoli yeebazizza Obwakabaka olw’okubakwatizaako mu mbeera ey’okusomoozebwa gye babaddemu n’okubakwatizaako nga bategeka omukolo guno.

Omukolo gwetabiddwaako omwami w’eggombolola y’e Mpenja saako n’omukiise w’e Gomba mu Lukiiko lwa Buganda nga bonna basabye abasigadde nga balabirira abaana okuli Ssenga Sandra Namuddu okubakuliza mu mpisa ennungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Gavumenti eremedde ku ky’okusiba...

Gavumenti eremedde ku ky’okusiba abali ku gw'okutemula Kaweesi

Fam2 220x290

Maama bamusse n’abaana be 3

Maama bamusse n’abaana be 3

Fut2 220x290

Teddy alaze ebyobugagga by’akoze...

Teddy alaze ebyobugagga by’akoze ne Bugingo

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...