TOP
  • Home
  • Buganda
  • Muwala wa Wasajja abatiziddwa mu kitiibwa

Muwala wa Wasajja abatiziddwa mu kitiibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2018

OMUMBEJJA Sarah Mazzi Ndagire muwala w’omulangira David Kintu Wasajja n’omuzaana Marion Elizabeth Nankya yabatiziddwa mu kitiibwa.

Namu 703x422

OMuzaana Nankya ng’abuuza ku Nnaabagereka. Mu katono, y'Omubejja Sarah Mazzi Ndagire eyabattiziddwa.

Omulangira Wasajja ye muto wa Kabaka Ronald Mutebi II ate Nankya muwala w’eyali omubaka wa Bukoto South mu Palamenti, omugenzi Mathias Nsubuga.

Baagattibwa Ssaabasumba wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga mu Lutikko e Lubaga mu January 2014, era okuva olwo Katonda yaakabawa abaana babiri okuli omulangira Edward Mbogo n’omumbejja Sarah Mazzi Ndagire.

Omukolo ogw’okubatiza gwetabiddwaako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, abalangira n’abambejja.

Mmisa n’okubatiza byakoleddwa Msgr. John Wynand Katende mu Lusirika (Foyer De Charite Kyoto) e Namugongo ku Lwomukaaga.

Olusirika luli wakati w’ekiggwa ky’Abakatoliki n’Abakrisitaayo ng’abantu ne bannaddiini bagendayo okwezza obuggya mu by’omwoyo.

sgr ohn ynand atende akola akabonero komusaalaba ku umbejja dagire bwe yabadde amubatiza ku womukaagaMsgr John Wynand Katende akola akabonero k’omusaalaba ku Mumbejja Ndagire bwe yabadde amubatiza ku Lwomukaaga.

Omubejja Mazzi, Omulangira Wassajja n’omuzaana Nankya be baasoose okutuuka ku ssaawa 8:30 ez’olweggulo oluvannyuma ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda naye n’atuuka n’ayanirizibwa Msgr. Katende akulira ekifo kino ate era ye mwogezi w’essaza lya Kampala.

Mmisa nga tennatandika Nabagereka yasoose kusala kaguwa okutongoza oluguudo olwakubiddwa kkolaasi okuva ku kkubo okukkirira mu Lusirika nga lwatuumiddwa Kabaka Ronald Mutebi Drive. Era Nnaabagereka yasimbye omuti gw’omuyembe oluvannyuma Mmisa n’etandika.

Omukolo guno gwabadde gwa bantu ba munda nga gwetabiddwaako abambejja n’abalangira, abooluganda lw’omuzaana nga ne nnyina Jolly Kawaya Nsubuga naye teyalutumidde mwana.

Msgr. Katende yasomye Mmisa ng’ayambibwako abasaserdooti okuli Fr. Vincent Mulumba , Fr. Kizito Kalemera naye abeera mu Lusirika ne Fr Gozanga Goza Ssali.

Ku mukolo gwe gumu mwannyina wa Nankya naye kwe yabatirizza mutabani we Francis Nsubuga. Omubejja Maria Sylvia Kibaya ye yabadde omuyima w’omumbejja.

Bwe yabadde ayigiriza Msgr. Katende yategeezezza nti omumbejja erinnya eryamuweebwa bajjajjaabe erya Sarah likakasiddwa mu Klezia Katolika era amaze okuyingira mu biwandiiko byayo, era kati Mukatoliki omujjuvu.

Msgr. Katende yakubirizza abazadde okufuba okukuza obulungi abaana baabwe nga babayigiriza empisa.

“Abazadde bangi bafuba okusasulira abaana baabwe fi izi empitirivu ne batafaayo kubagunjula ne baba nga babasimidde entaana.

Yasiimye Nnaabagereka olw’omulimu omulungi gw’akola ng’ayita mu Kisaakaate.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi