TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mayiga alabudde abayizi ba Muteesa 1 University ku kwekalakaasa

Mayiga alabudde abayizi ba Muteesa 1 University ku kwekalakaasa

By Dickson Kulumba

Added 19th March 2018

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alabudde abayizi ba Muteesa I Royal University ku kwekalakasa nti guno muzze gutatanira ddala ekifaananyi ky’ettendekero bw'atyo n'abasaba okuwagira abagikulira mu kiseera kino nga balafubana okulaba nga batereeza okusoomoozebwa okubanyiga.

Whatsappimage20180316at61258pm 703x422

Bino yabyogeredde ku mukolo  kweyakwasiriddwa emmotoka Nissan UBB 123N ng’ebalirirwamu obukadde obusukka 150 okuva mu Kkampuni y’emmotoka eya Motorcare ng’eno bagiwaddeyo yeyambisibwe abayizi ba Yunivasite eno abakola essomo ly’Obwayinginiya nga gwabadde Bulange- Mmengo ku Lwokutaano March 16, 2018.

“Temwenyigira mu kwekalakasa, ebyo bibi ddala tebirina gyebitwala Yunivasite. Emmotoka eno ebawereddwa yakubayamba kwongera kuyiga, mugyemu yingini n’ebirala mugiyiwe ate mujje nange munvugemu nga mukozesa omukisa gwemulina nti Yunivasite eno yabulwamu Ssekabaka Muteesa I eyali omwagazi w’obumanyi,” Mayiga bweyategezezza neyebaza aba Motorcare olw’okuvaayo okutumbula eby’enjigiriza mu Bwakabaka.

Emyaka ebbiri egiyise emabega abayizi ba Yunivasite eno bazze bekalakasa nga yagalwako mu October 2017 kyokka negulwawo nga December 2017 ng’abayizi naddala abasoma amasomo ga Sayansi naago agetaaga ebikozesebwa bagamba tebabirina. Okuva abakulira ettendekero lino bazze bafuna ebyuma ebikozesebwa naddala mu kitongole kya Yinginiya ekyaali obubi ennyo.

Katikkiro Mayiga yayongedde nategeza  obumanyi bufunibwa mu kutta mikago bwatyo naakubiriza abantu okukolanga emikago n'emikwano egibagasa nga Ssekabaka Muteesa I bweyakola omukago n'abazungu ogwavaamu byonna ebiri Ku mulembe ebirabibwa mu Uganda eyawamu.

Ye akulira Motorcare Uganda, Florence Sempebwa Makada ategezezza nga bwebasazeewo okutta omukago ne Yunivasite eno okuyamba abayizi okufuluma  nga bakuba buddinda sayansi akwata Ku mmotoka kuba  bafuna abayizi bangi abajja okutendekebwa nabo okuva mu matendekero agatali gamu nga batendekeddwa Tekinologiya w’emmotoka mukadde okusinga kwono aliko.

Omumyuka Ow'okubiri Owa Katikkiro wa Buganda era nga ye Minisita w'ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Twaha Kaawaase agambye nti batandise Ku lugendo lw'okunogera ebizibu bya yunivasite eno eddaggala naddala nga bateeka ebikozesebwa mu masomo ga Sayansi ne Tekinologiya.

Omukolo gwetabiddwako, Minisata Omubeezi ow'ebyenjigiriza Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Omumyuka wa Cansala wa Yunivasite eno n'abasomesa be n'abakungu okuva mu Motorcare Uganda era oluvanyuma wabaddewo okussa omukono Ku ndagaano z'omukago ne Katikkiro okukwasibwa emmotoka aba Motorcare gyebatonedde Yunivasite.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Exp 220x290

Express efunye wiini esooka

Express, efunye obuwanguzi obusooka bw'ekubye Police FC ku ggoolo 3-2.

Kop1 220x290

Imam abasibiridde entanda

Imam abasibiridde entanda

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi

Kat3 220x290

Katikkiro Mayiga akunze abantu...

Katikkiro Mayiga akunze abantu okujjumbira omulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'e Nkozi

Rep1 220x290

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo...

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti