TOP
  • Home
  • Buganda
  • Bannayuganda ababeera e Manchester basabye Nnabagereka abatwalire Ekisaakaate

Bannayuganda ababeera e Manchester basabye Nnabagereka abatwalire Ekisaakaate

By Dickson Kulumba

Added 9th April 2018

NNABAGEREKA Sylvia Nagginda akubirizza abazadde bulijjo okutemera abaana baabwe omusingi omugumu ogubanyweza mu mpisa ez’obuntubulamu, kibayambe okwang'anga ensi n’ebizibu byonna ebigirimu.

Nnabagerekamanchester4 703x422

Nnabagereka Sylivia Nagginda ng'ali mu kifananyi n'Olukiiko lw'Omumyuka w'Omubaka wa Kabaka atwala Manchester e Bungereza, Enock Kiyaga

Bino Nnabagereka yabyogedde ku ky'eggulo eky’enjawulo kwe yasisinkanidde  ba Mmemba b’Olukiiko lw’Omukungu wa Kabaka e Manchester, Enock Mayanja Kiyaga, ku Gotham Hotel wakati mu kibuga Manchester mu ggandaalo ery’Amazuukira n'ayongerako nti omwana akuziddwa mu mpisa ez’ekinnansi n’obuwangwa bwa Buganda tasobola kuyuugayuuga era asobola bulungi okwang'anga ebizibu by’ensi ne bw'aba abeera ku mawanga .

Okusinziira ku mukungu Kiyaga eyategese eky’eggulo kino, Nnabagereka Nagginda, eyawekereddwaako Omumbejja Ssangalyambogo, omuyambi we; Catherine N. Bwete wamu ne Muky. Susan Kaweesa, yakkiriza okusisinkana omukungu n’olukiiko lwe bamunnyonnyole emirimu gye bakola naddala ku baana abazaaliddwa ku mawanga wamu n’okusoomoozebwa abazadde kwe basanga okuyinza okugonjoolwa enkola ya Nnabagereka ey’Ekisaakaate.

“Maama wa Buganda twamusiimye emirimu gy’akolera ensi ye ku musingi ogw’obwannakyewa era ne tumuloopera emirimu gye tukola e Manchester n’ebibuga ebiriranyeewo nga Leeds, Liverpool n’ebirala okugunjula abaana naddala abazaaliddwa ku mawanga.

Naye era nga wabadde wakyaliwo okusoomoozebwa kunene naddala ng’emize egy’okwefumita ebiso, okukozesa ebiragalalagala, okwetuga  n’emize emirala, era ne tumusaba alowooze ku kitundu kyaffe ng’ebifo ebiyinza okuganyulwa ennyo mu mbuga ey’Ekisaakaate kya Nnabagereka,” Kiyaga bwe yategeezezza.

Mu kwanukula, Nnabagereka yeebazizizza ab’e Manchester, Leeds ne Liverpool n’abantu  bonna abali ku mawanga olw’emirimu gye bakola ku mawanga ne Buganda, ng’omwo mw'otadde n’obutasuulirira buvunaanyizibwa obw’okulabirira abantu baabwe nga babaweereza ensimbi.

“Ekisaakaate okuva lwe kyatandikibwawo emyaka kkumi n’esatu emabega, omuwendo gw’abaana abakijjumbira gweyongera buli lukya nga muno mw'otwalidde n’abaana abaava mu bitundu ebiri wabweru wa Buganda nga Ankole, mu Bukiika ddyo n'Obukiika kkono bwa Uganda wamu n'ebitundu ebirala.

Ennaku zino twafunayo n’abaana abava e Congo wamu ne South Sudan nga bonna bayaayaanira ekintu kimu, kya kuyiga Empisa z’Abaganda”  Nnabagereka bwe yategeezezza.

Nnabagereka yasabye Kiyaga n’akakiiko ke bateekewo akakiiko akanaatandikirawo okukola omulimu gw’okugunjula abaana b’omu kitundu, ng’okwo naye kw’anaasinziira okujja okutongoza n’okukuba embuga y’Ekisaakaate e Manchester.

“Ab'e Boston mu Amerika ne South Africa nabo nnabategeezezza ekintu kye kimu kubanga njagala omulimu gusigale nga gugenda mu maaso ng’omukolo gw’Ekisakaate gukomekkerezeddwa,” Bwatyo Nnabagereka bwe yannyonnyodde.

Nnabagereka yennyamidde n’eky’abaana abasinga obungi okubeera nti tebakyamanyi kwogera lulimi Luganda, awatali kwawula ababeera e Buganda n’ebweru waayo, bw'atyo n'awa abazadde amagezi battukize emizannyo egyazannyibwanga edda egiyigiriza abaana okwogera Oluganda.

Yawadde eky’okulabirako nti abazadde bayinza okutandika okuweerezanga abaana baabwe obubaka obuyita ku ssimu (mesegi) nga bakozesa Luganda lwokka n’agamba nti ekyo kijja kuyambako okuyigiriza abaana okuyiga ennimi zaabwe ez’ekinnansi.

Nnabagereka yagambye nti;

“ Tulina okwenyumiriza ku ky'okuba nti ogumu ku miramwa gy’Ekisaakaate ogwa “Obuntubulamu Butandika Naawe”, ab’ekitongole ky’ensi yonna ekya United Nations Development Project (UNDP) baatandika okugukozesa era nga mu lukung'aana lwabwe olusembyeyo olwali mu Amerika baalutambulizza ku mulamwa gwe gumu ogw’Obuntubulamu.

Nnabagereka oluvannyuma aliko obutabo obukwata ku Kisaakaate bwe yatonedde Olukiiko lw’omukungu e Manchester wamu n’ebibuga ebiriraanyeewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'

Capture 220x290

Maama wa Sizza Man anoonya mwana...

Maama wa Sizza Man anoonya mwana wa mutabani we.Yadduse ne ssente ezisukka mu kakadde

Abudabudawebusenew 220x290

Alina akawuka ka siriimu akwatibwa...

Bwe mbeera n'akawuka ka siriimu nsobola okukwatibwa endwadde z'ekikaba endala kabootongo?