TOP

Kabaka asiimye Kabushenga

By Dickson Kulumba

Added 11th April 2018

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye Robert Kabushenga ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka olw’okutegeka emisinde gy’omwaka guno egyajjumbiddwa okwetoloola ebitundu bya Uganda eby’enjawulo n’ebweru waayo.

Mutebi5 703x422

Kabaka ng'abuuza ku Kabushenga gye buvuddeko. EBIFAANANYI BYA DICKSON KULUMBA

Okusiima kwa Kabaka kuno akuyisizza mu Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ono obubaka abutuusizza okuyita mu lukiiko lw’amawulire lwe yatuuzizza e Bulange- Mmengo ku Lwokusatu ku makya n'agamba nti obungi bw’abantu abeetabye mu misinde bw'amusanyusizza nga kino kyavudde ku nteekateeka eyabadde ennungi.

“ Ssaabasajja Kabaka antumye ntuuse okusiima kwe eri ssentebe w’olukiiko olutegeka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, omukungu Robert Kabushenga ne banne olw’okutegeka emisinde egyajjumbidde bwe giti nga mu kino agamba kyavudde ku nteekateeka eyabadde ennungi era andagidde nkusikeko mu mukono,” Mayiga bwe yatuusizza obubaka bwa Kabaka.

Mu balala Kabaka beyebazizza era  Katikkiro beyakuteko mu ngalo, ye Kkampuni ya Airtel abavujjirizi abakulu saako n’abavujjurizi abalala okuli Bukedde afulumizibwa Vision Group, PostBank, Rwenzori, MAAD Advertising, Events Ware House, Aba  Athletics Kampala nga bano bebakuba maapu y’emisinde.

 atikkiro ayiga ngakutte omukungu obert abushenga mu ngalo oluvannyuma lwa abaka okusiima emirimu gye yakoze mu kuteekateeka emisinde gyamazaalibwa ga abaka egyabaddewo ku sande pril 82018 Katikkiro Mayiga ng'akutte omukungu Robert Kabushenga mu ngalo oluvannyuma lwa Kabaka okusiima emirimu gye yakoze mu kuteekateeka emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka egyabaddewo ku Ssande April 8,2018

“ Mu ngeri y’emu Ssabasajja Kabaka yeebazizza abantu bonna abaagumira enkuba n’ebisooto ne bajja mu Lubiri okwetaba mu misinde gino. Ate asiimye ne Minisitule y’Emizannyo, Abavubuka n’okwewummuza saako n’ekitongole kye ekya Majestic Brands nga bano be baabadde bakwanaganya enteekateeka yonna,” Mayiga bwe yayongeddeko.

Kabushenga nga y’akulira Vision Group, Remmie Kisakye owa Airtel n’abavujjirizi abalala betabye ku mukolo guno saako Minisita w’emizannyo e Mmengo Henry Ssekabembe Kiberu wamu n’akulira Majestic Brands, Omukungu Ronald Kawaddwa betabye mu lukungana luno.

Abantu abasukka 40000 bebetaba mu misinde gy’amazalaibwa ga Kabaka egyabaddewo ku Ssande April 8, 2018 nga bano babadde mu Lubiri e Mmengo, mu kibuga Masaka, e Jinja mu Busoga s aako n’e South Africa ng’Omubaka wa Kabaka e Bungereza Ronald Lutaaya naye eyetabye mu gyabadde mu Lubiri yategezezza nti bagenda kukola entegeka okudduka omwaka ogujja.

 kulira ision roup obert abushega ngaliko byannyonnyola atikkiro ayiga oluvannyuma lwolukungana Akulira Vision Group, Robert Kabushega ng'aliko by'annyonnyola Katikkiro Mayiga oluvannyuma lw'olukung'ana.

Ekintu ku nsimbi eziva mu misinde gino, Kabaka yasiima kikozesebwe okugulira abalwadde ba Nnalubiri ebikozesebwa mu bujjanjabi.

Ku lulwe Mayiga yagambye nti amazaalibwa ga Kabaka galaze nti ky’ekintu ekisobola okugatta Bannayuganda bonna awatali kweyawulamu mu ndowooza zaabwe n’amawanga bwatyo nakubiriza abantu okusigala nga bawagira enteekateeka eno.

AIRTEL EWADDEYO OBUKADDE 50 OKUTEGEKA OMUKOLO GW’AMAZAALIBWA GA KABAKA:                    

Ku Lwokubiri, Airtel yakwasizza Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro wa Buganda, Dr. Twaha Kaawaase nga ye Ssentebe w’olukiiko olutegeka ebikujjuko bya Kabaka ng’aweza emyaka 25 ku Nnamulondo saako ne Ssentebe w’olukiiko olutegeka omukolo gw’amazaalibwa ga Kabaka, Apollo Makubuya ensimbi obukadde 50 okukola ku nteekateeka.

 atikkiro harles eter ayiga ngali mu kifaananyi nabavujjirizi bemisinde gyamazaalibwa ga abaka Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'ali mu kifaananyi n'abavujjirizi b'emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka.

Omukolo guno gwabadde ku kitebe kya Airtel mu Kampala era ceeke yabakwasiddwa avunaanyizibwa ku kutunda Airtel mu bantu, Remmie Kisakye eyayongedde okweyama nti baakusigala nga bakolagana n’Obwakabaka mu bintu ebyenjawulo.

Omukolo omukulu ogw’amazaalibwa ga Kabaka gugenda kubeerawo ku Lwakutaano mu kigo e Villa - Maria mu disitulikiti y’e Kalungu era enteekateeka zimaliriziddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.