TOP
  • Home
  • Buganda
  • Birigwa yeewuunya obukugu Kabaka bwe yakozesa okugya mu mbeera ze yasanga e Uganda

Birigwa yeewuunya obukugu Kabaka bwe yakozesa okugya mu mbeera ze yasanga e Uganda

By Dickson Kulumba

Added 13th April 2018

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II yakomawo mu butongole okuva mu buwahhanguse nga August 15,1986 nga yayitira Busia bwatyo n’ajja okutungirira enteekateeka z’okuzzaawo Obwakabaka bwe obwali bwakamala emyaka 20 nga buggyiddwaawo.

Kaba1 703x422

Ssaabasajja ne Pulezidenti Museveni mu kulambula ekkuumiro ly’ebisolo erya Lake Mburo National Park mu 1994. Emabega wa Kabaka ye Wasswa Birigwa ne Rev Dan Kajumba.

Ebbanga eryo Kabaka yali alimaze Bungereza gye yatwalibwa nga muto okusoma.

Ebbanga lye yamala e Bungereza ng’afuuwa Lungereza era nga yeeyisa Kizungu okutuukana n’embeera gye yali abeeramu.

Wabula obwangu bwe yakozesa okukyusa okuva mu mbeera y’Abazungu gye yali akuliddemu ate okudda mu y’e Buganda, bwoleka engeri gye yatendekebwamu okwahhanga obulamu bw’ensi mu mbeera zonna.

Omulongo Wasswa Birigwa yagambye nti okubeera kwa Kabaka e Nairobi nga tannakomawo butereevu wano mu Uganda kwamuyamba okumuteekateeka okugya mu mbeera ng’akomyewo ku butaka. Birigwa yategeezezza nti:

“E Nairobi waabeerangawo abantu bangi okuli n’abakulembeze b’ennono okwali Omugabe wa Ankole John Barigye, Owa Tooro Patrick Olimi era abasatu bano wayinzanga okubasanga nga banyumya ku nsonga y’okutebenkeza ensi yaabwe.

Okutuuka wano, abaweereza be baasooka kunoonya w’ayinza okubeera ne bafuna amaka ga Patrick Kiwanuka omu ku bantu be abaawagira ennyo emirimu gy’Obuganda.

Kino kyawa Ssaabataka ekyanya okwongera okutunga kaweefube w’okuzzaawo Obwakabaka.

E Bulaaya yasisinkananga abantu kyokka ate okutuuka eno kyayitirira anti kyetaagisanga okwogera nabo okubazzaamu amaanyi n’essuubi.

Yali yeewuunyisa omuntu amaze emyaka emingi e Bungereza gye yagenda nga mwana muto,ng’Olungereza lwe lulimi lw’ayogera okuba nga yali amanyi Oluganda.

Obubaka bwe nga bubeera bumpimpi naye nga bujjudde amakulu.

BIRIGWA AWA AMAGEZI

Ekimu ku birina okusimbwako essira kati kwe kusaba abantu baffe bonna abali emitala w’amayanja okukomyawo kuno abaana baabwe, bakolere kuno emirimu.

Abo abatakisobola babeere nga basobola okukomangawo buli kiseera kigere.

Abamu baagenda mu myaka gya 1950 abalala 1960.

Tulina okuzimbira wamu Obuganda. Mbasaba balabire ku Kabaka.

Mpozzi Mmengo, nga gavumenti yaffe, esobola okufunayo ebifo mw’eteeka emirimu egy’enjawulo egisobola okukolebwa bannaffe abo abava e Bulaaya ne ofiisi esobola okubalambika nga bakomyewo wano kuba bangi balowozaamu eky’okudda kuno nga tebalina we bagenda kutandikira.

Asobola okubaako abaana b’asomesa asaanye akwatize ku Kabaka mu byenjigiriza kubanga bwe tubeera ab’amaanyi ne Kabaka abeera wa maanyi.

Noolwekyo abantu baffe basanye okukola n’amaanyi bave mu kulinda okusabiriza, ensigo, endokwa, endu n’emiti okuva mu gavumenti okusimba emmere!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....