TOP
  • Home
  • Buganda
  • Aba Buganda Land Board bagumizza ab'e Golomola Kibuule b’agobaganya ku ttaka

Aba Buganda Land Board bagumizza ab'e Golomola Kibuule b’agobaganya ku ttaka

By Joseph Makumbi

Added 26th April 2018

Akulira BLB, Kiwalabye Male era asabye omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola okuddamu okunoonyereza ku fayiro y’omuntu eyattibwa n’abaamutta bakwatibwe.

Maneno 703x422

Denis Bugaya, Daniel Ssenyomo bannamateeka ba Buganda Land Board ne Kiwalabye Male agikulira mu lukiiko olwabadde e Kigaya okwogera n’abatuuze b’e Golomolo.

ABA Buganda Land Board (BLB), bagumizza abatuuze b’e Golomolo, minisita w’ebyamazzi Ronald Kibuule b’agobaganya ku ttaka okuba abakkakkamu kuba teri agenda kubaggyawo.

Akulira BLB, Kiwalabye Male era asabye omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola okuddamu okunoonyereza ku fayiro y’omuntu eyattibwa n’abaamutta bakwatibwe.

Eggulo, Kiwalabye Male ng’ali ne ttiimu y’abakozi mu BLB (kitongole ky’ebyettaka e Mmengo) okwabadde ne bannamateeka baatuuzizza olukiiko ku mwalo e Golomolo mu ggombolola y’e Najja, Ssaabawaali mu disitulikiti y’e Buikwe okubannyonnyola ku nsonga ezikwata ku ttaka kwe bali.

Abatuuze baasoose kusomesebwa ebikwatagana ku ttaka ly’Obwakabaka n’engeri omuntu gy’asobola okuligula oba okufunako ekibanja. Nabo, baabuulidde aba BLB ebizibu bye basanga.

Daniel Ssenyomo, omu ku bannamateeka ba BLB yategeezezza abatuuze nti, ettaka kwe bali ligwa mu ofiisi ya Namasole n’agamba nti, Gavumenti ya Obote bwe yaggyawo Obwakabaka, Gavumenti ettaka yalyeddiza naye Gavumenti ya Museveni bwe yakomyawo Obwakabaka, ettaka lyonna lyaddayo mu mikono gya Mmengo era kati ttaka lya Bwakabaka.

Yagasseeko nti, engeri gye liri nti ttaka lya Bwakabaka ng’ate aba BLB be bavunaanyizibwa ku ttaka ly’Obwakabaka lyonna mu Buganda, tebafunangako muntu yenna yali abatuukiridde ng’ayagala kuligula.

Nga BLB bakimanyi nti liriko baabibanja. Margaret Nandese yagambye nti minisita Kibuule aludde ng’abagobaganya ekyavaako ne munnaabwe Dickson Wasswa okuttibwa, abaserikale abagambibwa nti bakuumi ba Kibuule.

Yattibwa nga August 8, 2017 ng’agezaako okulwanirira ettaka lye. Okusinziira ku Kibuule, ettaka lino yaligula ku Musa Kateregga era n’ebyapa byalyo abirina kyokka Kiwalabye Male yabategeezezza nti ebyapa Kibuule by’alina bifu kubanga ebituufu, y’abirina (Male) mu ofiisi ye.

‘TUKYALI MU KUTYA’

Abatuuze baategeezezza nti, waliwo emmotoka enjeru eyita mu kyalo ng’erimu abantu be batategeera ekibaleetedde okubeera mu kutya nti bandiddamu okubatigomya.

Abali mu kutya kuliko ne ssentebe w’ekyalo James Bbanda eyategeezezza nti atambulira ku kakalu ka kkooti.

Agamba nti yaakakwatibwa enfunda bbiri ku ttaka lino. Ogwasooka baamukwata July 31, 2017 ne bamusiba mu kkomera e Lugazi okumala ennaku kkumi ate nga December 1, 2017, ne baddamu ne bamukwata.

Baamutadde nga January 22, 2018 nga kati ali ku kakalu ka kkooti ng’ate okumuta, omulamuzi George Obongo yamulagira asasule akakadde kalamba.

Kiwalabye Male yabagambye nti, babeere bagumu emmotoka yaddembe okuyita mu kkubo wabula abagirimu tebalina lukusa ku ttaka lyabwe.

Ono yabasomedde n’ekiwandiiko ekyava mu Minisitule y’ebyettaka nga February 14, 2018 ekyali kisazaamu ebyapa byonna ku ttaka lino eriri ku block 369 ebibanja 8,9,10,11,12 ne 13.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza