TOP
  • Home
  • Buganda
  • Federo ye yayamba okukulaakulanya Girimaani - Kabaka

Federo ye yayamba okukulaakulanya Girimaani - Kabaka

By Dickson Kulumba

Added 26th April 2018

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II atendereza eggwanga lya Girimaani olw'okubeera eky'okulabirako eri ensi endala okuteeka mu nkola enkola y'obukulembeze eyetanirwa bannansi bayo ekintu ekirina okukopebwa naddala amawanga ga Afirika.

Kabakagermany1 703x422

Kabaka Mutebi II ng'ayaniriza Omubaka w'e Girimaani mu Uganda,Dr. Albrecht Conze eyakyadde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu April 25,2018.

Bino byabadde mu nsisinkano ye n'omubaka w'eggwanga lya Girimaani mu Uganda, Dr. Albrecht Conze ng'ono yagenyiwaddeko mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu April 25,2018.

Mu kukulembera abantu baayo, Girimaani ekozesa enkola eya Federo ng'eno gye bettanira era ekulaakulanyizza eggwanga  nga bwe yali ekoze wano e Buganda mu mya gya 1960 bwe yali tennaggyibwawo.

Kabaka yakakasizza Dr. Albrecht nti Obwakabaka bwa Buganda bwakukolagana ne Germany mu bintu bingi okuli enkola ya federo, Obwakabaka kwebufiira.

Mu kwogera kwe, Dr. Albrecht yategezezza Omutanda nti ekyamututte okugenyiwalako mu Twekobe, yayagadde okumanya ebyafaayo by'Obwakabaka ebingi, nga bwe bumu ku Bwakabaka obukyasigaddewo mu nsi yonna ate nga buganzi.

Omubaka yeewunyizza engeri Obwakabaka gye buyinzizza okuyimirirawo nga tebulina nfuga ya federo, nga kati bugenda na kujjaguza emyaka 25 bukya Kabaka atuuzibwa ku Nnamulondo bw'atyo n'asaba abantu okwongera okwagala n'okutambula ne Kabaka waabwe saako okukola n'amaanyi okukulaakulanya Obwakabaka bwabwe.

Dr. Conze yegasse ku mubaka w'Obwakabaka bw'e Bubirigi naye eyagenyiwalako embuga nga February 15,2018 okwongera okunyweza enkolagana y'ebitundu byombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....