TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mmengo eteekateeka kuzimba Ebitawulizi mu masaza

Mmengo eteekateeka kuzimba Ebitawulizi mu masaza

By Dickson Kulumba

Added 16th May 2018

MMENGO egenda kuzimba ebitawulizi okwetoloola Obwakabaka ng’omu ku kaweefube w’okukendeeza ku misango n’enjawukana n’endoliito eziva ku bantu okukayanira ebintu naddala ebyenfuna omuli n’ebyobusika.

Katikamu1 703x422

Minisita Omubeezi Ow'ebyobuwangwa e Mmengo, Yusuf Wamala Ggaganga ng'akwasa ab'eggombolola Mutuba II Mukuma Katikamu abakulembeddwamu Edmond Sserunkuma, ekifananyi kya Kabaka oluvanyuma lw'okusinga amagombolola amalala agaaleese e Mmengo Oluwalo. Omukolo gwabaddewo ku Lwokubiri May 15,2018 e Bulange- Mmengo.

Bino byanjuddwa Minisita Omubeezi ow’ebyobuwangwa, Yusuf Wamala Ggaganga bweyabadde akkikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo abatuuze okuva mu maggombolola okuli Ssabawaali Kalagala, Mutuba II Katikamu, Zirobwe wamu ne Bamunanika mu ssaza ly’e Bulemeezi nga bakulembeddwamu Omumyuka wa Kangaawo Charles Ssegujja kwebaletedde embuga oluwalo lwaabwe e Bulange- Mmengo ku Lwokubiri May 15, 2018.

“Obwakabaka bulina enteekateeka ey’okukola Pulani ey’ebitawulizi mu Bwakabaka bwa Buganda era nga bifanaganira ddala nga bwolaba embuga z’amasaza. Njagala okwebaza eggombolola y’e Katikamu etulaze nti nayo erina kyetandiseewo ebitawulizi era mbasaba mukwatagane n’ekitongole kya gavumenti ez’ebitundu okulambikibwa ku nsonga eno,” Minisita Ggaganga bweyategezezza.

Ggaganga yayongedde naasaba abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okuwereeza n’obwesimbu ate baleme kutunda bintu bya Kabaka ng’Omumyuka w’Oweggombolola y’e Zirobwe,Ronald Ssenyonjo, bweyakola neyekobaana n’abaali mu gavumenti eyawakati okutwala ettaka ly’eggombolola.

Ssegujja yasabye Mmengo ebayambe efune Bannamateeka okugenda mu bitundu by’ebyalo okubangula abantu ku mateeka n’okuwolereza abo abagagga bebatwalako ettaka lyaabwe.

Ssabawaali Kalagala George Kaleebu yategezezza nti ensonga z’ettaka mu kitundu kye zetaaga Obwakabaka okuyimukkiramu okujja okuzigonjoola naddala erisangibwa mu Muluka gw’e Degeya. Eggombolola lyaleese oluwalo lwa nsimbi 2,117,000/-

Abe Katikamu nga bakulembeddwamu Oweggombolola Mukuma Edmond Sserunkuma baleese 2,700,000/-, Bamunanika 2,190,000/-, ate Zirobwe 1,551,000/- ng’abamu ku basinze okusonda kuliko Sao Zirobwe nga bawaddeyo 400,000/- nga bakikiriddwa Fred Kalyowa, Hajj Sulaiman Magala 100,000/- n’abalala ng’abyizi ba Kayindu SS bebamu ku basanyusizza abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gov’t etongozza okubunyisa amazzi...

Gov’t etongozza okubunyisa amazzi amayonjo mu disitulikiti y’e Luweero ne Mukono-gaakumalawo obuwumbi 7

Kap1 220x290

East Buganda station ey’Abadvent...

East Buganda station ey’Abadvent eyolekedde kufuuka bulabirizi obwetongodde

Rem1 220x290

Abatuuze bavudde mu mbeera ne bafuumuula...

Abatuuze bavudde mu mbeera ne bafuumuula abagambibw okubeera abamenyi b'amateeka e Makerere

Kad1 220x290

Kadaga asabye ababaka okukola amateeka...

Kadaga asabye ababaka okukola amateeka agakuuma abali ku kyeyo

Bob1 220x290

Omubaka Robert Kyagulanyi alumbye...

Omubaka Robert Kyagulanyi alumbye Gavumenti ku by'e Bududa