TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omutaka eyalaamye okumuziika mu mbugo 400 taziikiddwa lwa butakkaanya

Omutaka eyalaamye okumuziika mu mbugo 400 taziikiddwa lwa butakkaanya

By Dickson Kulumba

Added 28th May 2018

KWABADDE kuswala olw’okulemererwa okusalawo eky’okuziika Omutaka Kisolo Herbert Muwanga nga kuno kwabadde kutegekeddwa okubeerawo ku Lwomukaaga.

Zika 703x422

Omubiri gw’Omutaka Kisolo Herbert Muwanga nga guli mu luggya lw’Obutaka bw’ekika ky’eηηonge e Bwezza-Busujju.

Omubiri gwe gwaggyiddwa ku butaka bw’ekika ky’eηηonge ne guzzibwa e Kampala gye gukuumirwa.

Entabwe yavudde ku butakkaanya obwabaluseewo nga waliwo ab’ekika abakalambidde ku ky’okuteeka mu nkola ekiraamo ky’Omutaka ono nga mutabani we Matayo Kaboggoza y’alina okumuddira mu bigere kyokka ate ng’abamu ku bo baagala muganda w’omugenzi ayitibwa Lutaaya y’aba adda ku bukulu bwa Kisolo (omukulu w’ekika ky’eηηonge).

Ensonga eno yagulumbizizza Abataka ab’enjawulo abaabadde ku mukolo guno, enkiiko ne zifuuka enkiiko ssaako n’obukkukuulu okulaba ng’ensonga eno egonjoolwa.

Essaawa zaweze 8:00 ezaabadde zirina okuziikirwako nga tewannaba kabonero kalaga nti okuziika kunaabaawo.

Oluvanyuma Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki nga ye yakiikiridde Obwakabaka yatuuse n’agenda mu lukiiko ne bakatikkiro b’ebika abalala abaabaddewo ssaako n’obukulembeze bw’ekika okumulungula ensonga.

Ku ssaawa 8:25, Omulabirizi wa Central Buganda Micheal Lubowa yatuuse n’ayingizibwa mu nju n’ategeezebwa ku mbeera eriwo kyokka ne balemererwa okukkaanya ku ky’okuziika Omutaka.

Kyokka bakkiriziganyiza, Ekkanisa okusaba. Bp Lubowa yakulembeddemu okusaba nga mu kubuulira kwe yasabye abantu okukolanga ebiraamo kyokka n’abo ababirekeddwa beewale okubikyusa.

“Abataka mwenna musse ekitiibwa mu kiraamo. Nze abagamba nze Mulabirizi wammwe abayamba okuluηηamya ensonga era ekkanisa n’ennono tolina w’obyawulira kubanga ekkanisa eyo ne Yesu Kristo yalina ennono kye yava ayita mu Bayudaaya naye obulombolombo obwali obukyamu n’abudibya n’aleeta obupya,” Bp Lubowa bwe yategeezezza.

Ebigambo era byavudde mu mbeera eyabaddewo ng’abamu ku bawakanya bagamba nti Omutaka yabadde alina kuziikibwa ng’omuntu owaabulijjo kuba waliwo ababadde tebamulaba nga Kisolo ng’ate oludda olulala lugamba nti ono abadde Kisolo ng’ebbanga lyonna tewali avuddeyo kumuwakanya.

Mu ngeri y’emu Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka abakulu b’obusolya, Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante yabadde asindikidde ab’Eηηonge ebbaluwa ebalambika okuziika Herbert Muwanga mu bitiibwa ebituufu nga Kisolo nga mu kino balina okumukolako obulombolombo okuli okukkiriza Omusika we okumubikka akabugo nga kino kitegeeza nti yazze mu bukulu bw’ekika.

Ekirala yabasabye bwe baba tebamuziikira mu mbeera eyo, okuziika kuyimirizibwe okutuusa ensonga lwe zinaagonjoolwa. Oludda oluwakanya lukulemberwamu Lutaaya Kibandwa.

Enkiiko n’okwebuuza byabaddewo eggulo era n’olunaku lwaleero (Mmande) endala zisuubirwa okugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe