TOP

Tukyabanja ebyaffe - Katikkiro Mayiga

By Dickson Kulumba

Added 28th May 2018

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti, bukya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akola ndagaano ne Pulezidenti Museveni mu 2013, Gavumenti ekyalemeddwa okugissa mu nkola, ekizing'amizza enteekateeka n’emirimu e Mmengo.

Mayigakubanja1 703x422

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'annyonnyola ku by'okulumba Olubiri e Mmengo mu 1966.

Mayiga yannyonnyodde nti, ebintu bya Buganda bingi bikyalemeddeyo.

Kabaka ne Museveni bwe bassa emikono ku ndagaano eya August 1, 2013, Gavumenti eya wakati okuddiza Obwakabaka ebintu byayo, waaliwo okwesunga n’okufuna essuubi kyokka emyaka etaano giyiseewo, ebintu ebisinga obungi tebiddizibwanga.

Bino yabyogeredde mu Bulange ku Lwokuna lwa wiiki ewedde mu bubaka bwe yawadde nga Buganda okujjukira emyaka 52 bukya Obote ayungula amagye ne galumba Olubiri lw’e Mmengo.

Ssekabaka Muteesa II yawah− hangukira e Bungereza gye yafiira nga November 21, 1969. “ Endagaano Pulezidenti Museveni gye yakola ne Ssaabasajja mu 2013 tennatuukirizibwa yonna.

Buganda ebanjizza ebintu byayo nga bwe byakkaanyizibwako kyokka bikyagaaniddeyo”, Mayiga bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti ku biri mu ndagaano, Buganda ekyabanja enfuga ya Federo, kubanga yeetaaga (Buganda) okugabanya obuyinza, yeekolere ku nsonga zaayo okusobola okugoba obwavu n’okuleetawo enkulaakulana.

Ku byaliwo nga May 24, 1966, Mayiga mu ddoboozi ekkangufu yalabudde yenna alowooza nti ebya 1966 bisobola okuddamu nti wakwahhangibwa kubanga Buganda ey’omulembe guno si ye ya 1966.

Yakubirizza abantu okukomya okwekubagiza kubanga Obwakabaka kati bulina Kabaka nga basaanye kubeera awamu okulaba Obwakaba nga bugenda mu maaso.

Mu ngeri y’emu Abaganda abeegattira mu kibiina kya, Abazzukulu ba Buganda International bakuzizza olunaku luno n’Omulanga eri Mmengo, okussa ekitiibwa mu bonna abafiirira ensi yaabwe mu budde obwo era ne baginenya olw’obutategeka mukolo guno olw’okuba tebalina ssente.

Mubiru Njuki nga ye muwandiisi w’Olukiiko luno, yasabye Mayiga okukola ku bintu ebinyiga Abaganda naddala okunyigirizibwa kwe basanze mu Uganda eyaawamu eyabatekebwamu nga Gavumenti efuba okubanyigiriza okubasanyaawo n’agamba nti Buganda okufuna Federo ky’ekinayamba.

Omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba yategezezza Bukedde nti Obwakabaka bulina emikolo mingi gye bwayimiriza ate emirala ne bagigatta olw’enteekateeka empitirivu ez’okujjaguza emyaka 25 nga Kabaka Mutebi II ali ku Nnamulondo okubeera enyingi.

“Si kituufu nti Obwakabaka bwalemeddwa okutegeka omukolo gw’okulumba Olubiri nti, tetulina ssente wabula ekikulu kiri nti tuli mu kiseera kya kujaguza emyaka 25, bukya Kabaka atuuzibwa ku Nnamulondo ng’emikolo mingi egimu ne basala wo okugyongezzaayo,” Kiyimba bwe yagambye.

Egimu ku mikolo egyagattiddwa olw’obungi kuliko, ogwa Bulungibwansi, olunaku lw’ebyobulamu olwabadde olw’okubeera e Bugerere nga May 24, 2018. Kabaka yasalawo lwongezebweyo, olunaku lw’okujjukira okulumbibwa kw’Olubiri, ebijjaguzo ne byongezebwayo omwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam