TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kirumira ayise abaatulugunyizibwa Poliisi ya Flying Squad abatwale mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu bayambibwe

Kirumira ayise abaatulugunyizibwa Poliisi ya Flying Squad abatwale mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu bayambibwe

By Dickson Kulumba

Added 8th June 2018

EYALI addumira Poliisi y'e Buyende, Mohammad Kirumira aweze okutwala Poliisi mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu, bofiisa bonna abakoze effujjo ku bannansi bavunaanibwe olw'ebikolobero byabwe nga bbo ng'omu ku kaweefube gw'aliko okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu ggwanga.

Mutubampigi4 703x422

Afande Mohamad Kirumira ( ku ddyo) ng'aliko byalaga Katikkiro w'ebyalo bya Kabaka David Mutunzi ( ku kkono) bwe yeegasse ku bantu b'eggombolola Mutuba I Mpigi okuleeta amakula e Bulange- Mmengo nga June 7,2018.

Bino yabyogedde awerekeddeko abatuuze mu ggombolola Mutuba I Mpigi abazze e Bulange- Mmengo Ku Lwokuna June 7,2018 bwebabadde baleese amakula ga Kabaka naagamba nti ekiseera ky'abaserikale okukola efujjo Ku bannansi kiweddewo.

" Nkowoola bonna abatuusibwako okutulugunya okwenjawulo bantuukirire kuba mu kiseera kino ndi mu kukola olukalala oluvannyuma ndutwale mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu abapoliisi abo aba Flying Squad bavunaanibwe.

Nnalabye abakulira ekitongole ekyo nga baagobye 60 nsaba abo babakwate babampe, emisango gyanguwe," Kirumira bwe yategeezezza wakati mu kwewuunya nti olaba bamuteekako ogw'okubba chapati ate bano abakoze ebikolobero ebisingako awo.

Kirumira yategeezezza nti Poliisi bw'enaamuta, asuubira okwegatta mu by'obufuzi olwo agende mu maaso n'okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

Ekirala yakkaatiriza ebigambo bya Katikkiro Charles Peter Mayiga ku kya bannabyabufuzi bulijjo okulabikiranga mu mirimu gy’Obwakabaka n’abantu baabwe.

“ Sizze Mmengo lwakuba nti njagala kwesimbawo e Mawokota naye lwakuba ndi musajja Muganda era alina ensibuko nga nva mu kitundu kino ekya Mutuba I e Mpigi era sirina kutya kwegatta ku bannange okukola emirimu gy’Obwakabaka,” Kirumira bweyayongeddeko era n'ategeeza nti agenda kuddayo asome akuguke mu mateeka.

Abantu bano bakulembeddwamu ow’eggombolola David Bbuye ne baleeta Ente 4, embuzi 2, enkota z’amatooke 13, enkota za gonja 2, ekibbo kya lumonde Omuganda (1), ekibbo kya kasooli omubisi (1), ensujju (10), enkota za ffene 6, ebinywa by’endagala 2, ettu ly’obutiko n’emmotoka y’enku.

Ye omubaka omukyala mu Palamenti ow’e Mpigi Sarah Temulanda yeebazizza Kabaka Mutebi II olw’okugatta abantu ba Buganda ekintu ekireeseewo obumu nga buli muntu mu kiseera kino yeegazanyiza bulungi .

David Mutunzi nga ye katikkiro w’ebyalo bya Kabaka yasabye abazadde okutegeka abaana baabwe okwang'anga ensi okusinga okubategekera nga lye limu ku kkubo erinaayamba okukuuma ebintu byabwe era n'asaba abantu bongere amaanyi mu bulimi n’obulunzi saako n’okuyigiriza abantu abavubuka okukola emirimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...