TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mmengo egenda kufuuza ebyapa by'ettaka lya Buganda

Mmengo egenda kufuuza ebyapa by'ettaka lya Buganda

By Dickson Kulumba

Added 20th June 2018

MMENGO egenda kufuuza ebyapa ku ttaka ly'ennono lyonna ng'ebinasangibwa byakusazibwamu kubanga ettaka ly'ennono terigabwako byapa.

Kufunabyapa4 703x422

Abantu nga bawandiisa ebyapa ebyabaweereddwa mu nkola ya 'Kyapa mu Ngalo'

MMENGO egenda kufuuza ebyapa Ku ttaka ly'ennono lyonna ng'ebinasangibwa byakusazibwamu kubanga ettaka ly'ennono terigabwako byapa. 

Bino byayogeddwa akulira ekitongole kya Buganda land Board, David Kyewalabye Male bweyabadde Ku mukolo ekitongole kino kwe kyakwasiriza abantu ebyapa 212 byebaafuna mu nkola eyitibwa KYAPA MU NGALO nga gwabadde Ku kitebe kyaakyo ekisangibwa Ku kizimbe Masengere Ku Lwokubiri June 19,2018. 

" Bwewesanga ng’oli ku kifo kya nnono, ekyo kibeera kisazibwamu kubanga ffe tetusobola kugaba byapa ku Mujjaguzo, Nnaggalabi, Masiro e Kasubi era singa obeera okoze olukujjukujju nolimba ebbaluwa neyitamu ekyapa nekifuluma,bwewabeera ajja nagamba nti ekyapa wakifuna ku ttaka lya nnono, kisazibwamu.

Mu ndagaano omuntu gyakola erimu akawayiro akagamba nti singa wafunye wasangibwa nga kino kya nnono era n’okupima nekukolebwa, kisazibwamu,” Male bweyagambye. 

Kyewalabye Male yayongedde n'asaba abaami ba Kabaka obutemulugunyiza eyo wabula bajje mu kitongole babagulizeeko okusobola okulondoola ensonga bweziti  nalaga amawulire agafulumidde mu Lupapula luno Abakuuma Mujjaguzo e Kabowa mwebemulugunyiza ku kitongole kino olw’okutunda ettaka ly’ekifo kino bwatyo nategeza nti yasindise dda ttimu ye okwetegereza ensonga eno. 

“ Twakamala okutaasa embuga ya Kiweewa wano e Bunamwaya wiiki nga bbiri emabega netusibawo ne ssengenge ate sisobola kuba nga ntaasa embuga ya Kiweewa ate ngaba Mujjaguzo, tekisoboka kiraga nti tuliko ekikyamu,” Male bweyayongeddeko. 

Omugenyi omukulu yabadde Minisita Omubeezi Ow'ebyobulimi e Mmengo, Hajj Hamis Kakomo ng'ono yakubiriza abantu okwetanira okutereza obusenze Ku ttaka ly'Obwakabaka era naagumya abawereddwa ebyapa nti bituufu, ebigabibwa Minisitule y'ebyettaka mu Uganda. 

“ Abantu abasoba 20000 basaba okupuntibwa ebyapa byaabwe ku miwendo emisamusamu era guno ku mikolo emingi egikoleddwa okubagabira ebyapa. Obwakabaka bugenderera okulaba ng’ettaka libeera kya bugagga eri oyo nnanyinni lyo amanyiddwa. Nebaza ebitongole byonna byetukolagana nabyo mu nteekateeka eno okuli Minisitule y’ebyettaka mu gavumenti eyawakati, KCCA, Disitulikiti okuli Wakiso n’abaami bonna. Naye njagala mwongere okukitegera nti okufuna liizi kwa kyeyagalire,” Hajj Kakomo bweyanyonyodde. 

Ye Omulangira David Kintu Wasajja yebazizza abantu olw'okuvaayo nebafuna ebyapa kubanga teri nsi esobola kukulakulana ng'ettaka liri Ku mutendera gwa ndagaano n'okwawulwa empaanyi wabula kati enkola y'ebyapa yeriwo. 

Okusobola okukuuma n'okunyweza ettaka lya Buganda, Matia Lwanga Bwanika nga ye Ssentebe wa Disitulikiti y'e Wakiso yasabye abaami ba Kabaka okwesimba Ku bwa Ssentebe bw'ebyalo saako n'okulondobayo abatuufu okwesimbawo kubanga bakola kinene mu nsonga z'okutunda ettaka. 

Enkola ya KYAPA MU NGALO yatandikibwa mu 2016 era abantu abasoba 130000 bebewandiisa mu nteekateeka zaayo ez'enjawulo kyokka yakomekerezeddwa ku ntandikwa y’omwaka guno.

Kino kitegeza nti omuntu okufuna ekyapa wakukolwako okusinzira ku mbeera y’akatale nga bweri.  Omukolo gwetabiddwako abaami ba Kabaka okuli Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza (Busiro), Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo (Kyaggwe) n’abamyuka ba Kaggo James Wasula ne Agnes Nakibirige Sempa n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi